Mu program Entanda ya Buganda eyindira ku 88.8 CBS FM Ey’obujjajja, eyabaddewo nga 11 October,2023 yetabiddwamu abamegganyi okuli Ssozi Nasur eyafunye obugoba 23 ne Kalyango Farouk yafunye obugoba 21 era nebasuumusubwa okugenda mu lumeggana oluddako, ate Kisawuzi Tom yafunye obugoba 19 yawanduse.
Bino by’ebibuuzo nga bwebyabadde;
1. Olugero lwenkumaliddeyo, ggwe lutandike mu butuufu bwalwo
…….Yeekamwana yekka – Atalina amukaamwana.
2. Abaganda n’ensimbi baazaawulamu engezi n’ensiru, tuwe enjawulo mu zo – Ensimbi engezi ebaamu ekituli ate ensiru tebaamu kituli.
3. Ffe abaamulaba ng’abba ssente, tereeza ssentensi eyo mu Luganda olutuufu – Ffe twamulaba ng’abba ssente
4. Omuganda asobola okufuna omuliro nga yeeyambisa obutonde bwensi, tuweeyo engeri bbiri – Akozesa Amayinja n’ejjirikiti.
5. Ebyana by’enjuki Omuganda alina bwabiyita, abiyita atya? – Ebinyago.
6. Abaganda bawanuuza ki ku Birevu ebimera ku bakyala – Mbu baba bamukisa.
7. Okuva edda ng’Omuganda muyiiya nnyo, mpaayo ebintu bibiri Omuganda mweyakolanga omunnyo – Eggugu n’ebiwata by’amatooke.
8. Mpaayo ekisoko ekitegeeza nti embaga yanyumye nnyo – Embaga yanyumye ataabadde na mwana yaweese ejjinja.
9. Engoma Buganda Bumu, Kabaka Mutebi yagireegesa mwaka ki? – 2012
10. Bwetugamba omuntu nti kulika ow’e Malwongwe tuba tumukulisa ki? – Tuba tumukulisa buwuulu.
11. Waliwo omuntu nga ye tafa, okufa kwe nga tukuyita okwewungula, ani? – Ssaalongo oba Nnaalongo.
12. Erinnya ly’omufuzi ow’ennono eyawangangusibwa ne Kabaka Mwanga – Omukama Kaabaleega.
13. Olugero, Abalirira ekigula enkumbi – Tawa munne ssooli ddene.
14. Ebiwuka bya bika bisatu ebibeera mu ttaka ng’Omuganda abirya – Enswa, amayenje ne nnamunswa.
15. Ennaku zino obusambattuko bungi mu maka, tuweeyo ensonga bbiri ezireeseewo embeera eno. – Okunywa omwenge n’obwavu.
16. Kuva dda ng’Abaganda bamanyi ssaayansi ow’obwengula ne batuuma n’emmunyeenye amannya, ekiganda ky’emmunyeenye omukaaga baziyita batya? – Nnakakaaga.
17. Mpaayo embeera emu ebinyirikisi lwebiyitibwa ebisuumwa – Nga bikolokoteddwa okukozesebwa mu kuziraga.
18. Mpaayo embeera bbiri, essimu mwesobolera okutta omuntu ng’ajoogererako – Ssinga wabaawo amuwa amawulire agatiisa/ agakanga naddala ng’abaddemu n’obulwadde bw’omutima, ssinga ajogererako ng’atambula nemutwala ebirowoozo bayinza okumutomera n’afa.
19. Ey’evviivi okuba nga tekyasaka kitegeeza ki? – Okukoowa ennyo.
20. Abaganda baakiraba dda ng’anamabwa galina bba waago, bba w’amabwa yaani? – Kookolo.
21. Omuntu omukulu akwatiddwa kasikonda ayinza atya okujjanjabwa? – Asobola okunywa ku mazzi.
22. Lwaki Omulangira agenda okutikkirwa e Naggalabi tasomoka mugga Mayanja? – Kubanga n’omugga ogwo Mulangira.
23. Ennaku zino gavumenti erina enkola nnyingi nnyo mweyita okuggya abantu mu bwavu, emu ku zo ye PDM, kirambulule, – Parish Development Model.
24. Olugero, Baleke baggwe eggayangano – Nga gwayagala yaali ku ngulu.
25. Mpaayo ebintu bibiri eby’ennono byebeeyambisa mu kusona omukeeka – Obuso n’ebyayi.
26. Omuwala bweyeekoona akagere Abaganda bawanuuza nti abeera afumbiddwa, ani abeera awasizza omuwala oyo? – Lubaale Musoke.
27. Akabimbi akatono kakira ekyosi, Omuganda kiki kyayita ekyosi? – Olunaku omuntu lwatakoze.
28. Olugero, Omwangu y’atta enswa – ng’asanze zibuuka.
29. Ekintu abaweesi kyebeeyambisa okukuma omuliro mu ssasa bakikola mu ddiba, liba lya nsolo ki? – Lya ndiga.
30. Omwana omuto bwatandika okuyimirira tugamba nti akola ki? – Aba atengeredde.
31. Buganda Royal Institute yafunye ssenkulu, yaani? – Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu.
32. Lwaki ba mulekwa babasiba amafuvu? – Okubagumya n’okubaawula abakungubazi basobole okubamanya.
33. Mpaayo omugaso gumu omukulu ku nku ez’okukibanyi mu mpisa z’Abaganda. – Tezifumbisibwa mu kyeya.
34. Ssinga oli akumanyisa nti mujja kugenda awo mu lubungubungu – ku ssaawa nga 12 ez’okumakya ez’okumaliiri.
35. Ekikolwa eky’okussa empagi ennene mu nju y’Omuganda kiweebwa linnya ki? – Okuwanga enju.
36. Olugero, Awerekera ensanji tajja nayo – kawawa asigala ku mulyango.
37. Omwana atuumibwa erinnya erya Mujumbi yaaba atya oyo? – Azaalibwa kiro ate ng’enkuba etonnya.
38. Eryato ery’okumazzi lyebasibako engoye lisobole okutambula liweebwa linnya ki? – Ettanga.
39. Olugero, Gutta ento – Negutaddira awo.
40. Obukutubba obuyenja ku mwenge waggulu, Omuganda yabuwa linnya ki? – Obucu.
41. Ekisoko, Okulabya omuntu eza Kyobe kitegeeza ki? – Kumubonyaabonya.
42. Empafu ento, Omuganda agiwa linnya ki? – Eggu.
43. Ensangi zino waliwo akawuka akalya ekikolo kya kasooli naye katandikira mu bikoola, omulimi ayinza kukalwanyisa atya? – Akafuuyira eddagala lya ssaayansi.
44. Mpa amannya g’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda olukulu – Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.
45. Mpaayo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kulya – Okulya emmere n’amannyo N’okulya Obwami.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K