Ekijjulo kya Kaliisoliiso dinner kiyindira ku Speke Resort e Munyonyo.
Ba minister ba Buganda abawerako betabye ku Kaliisoliiso dinner.
Ekijjulo kino kigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okudduukirira eddwaliro lye Nkozi ewazimbibwa ekifo ewajanjabirwa abagudde ku bubenje.
Ebitongole ebyenjawulo omuli MTN, Centenary, URA,Fotogenix, Pride microfinance, Pepsicola n’ebirala.
Ekyeggulo kino kiva mu Programme ya Kaliisoliiso eweerezebwa ku mpewo za 88.8 CBS FM, ku ssaawa emu n’ekitundu okutuuka ku bbiri ezokumakya (7:30am – 8:00am), okuva monday okutuuka ku Friday.