Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alungamizza Obuganda ku bujjanjabi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwafuna e Bulaaya,agambye nti buwa essuubi. Katikkiro agambye nti Omutanda akyaliyo e Bulaaya ajanjabwa...
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde nti obutawa Nnono na Buwangwa kiitiibwa kyekimu ku biviiriddeko abantu okudobonkanya obulamu bwabwe, naasaba emikolo omuli Okwabya enyimbe giweebwa Obudde obumala. Abadde yeetabye...
Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza ensawo ey`okusonderamu ssente ez`okuyambako mu kujanjaba n`okumanyisa abantu ebikwata ku ndwadde z'emitwe. Ensawo eno etongolezeddwa mu Bulange Mengo etuumiddwa Nnaabagereka Fund Queen's Ball and mental Health...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde okunyiikira okuweerera abaana abawala nga bwebakola ku balenzi, nti kubanga balina obusobozi obutereeza ensi eno bwebaweebwa omukisa. Katikkiro agambye nti abaana abawala...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza ababaka mu Lukiiko lw'eggwanga Olukulu abasimbidde ekkuuli entekateeka ya government eyokugatta ekitongole ky'emmwaanyi ku ministry y'ebyobulimi. Owomumbuga abadde alambula abalimi b'Emmwaanyi mu Ssaza...
Enteekateeka ya Ssemasomo w’Abalungamya b’okumikolo ow’omulundi ogw’okutaano agguddwawo n’omulanga eri abalungamya okwettanira okusoma ebikwata ku buwangwa n’ennono za Buganda, olwo lwebanaakola omulimu ogubaweesa ekitiibwa n’okukuuma ennono za Buganda nga tezityoboddwa....