Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda ow’omwaka 2024 atambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Abakyala ba nkizo mu nkulaakulana eya namaddala”.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga asabye wabeewo entekateeka eyenjawulo ey’Okuyambako abakyaala okwekulaakulanya, nti kuba emirimu gyebakola giyamba Kinene mu nkulaakulana y’Obwakabaka.
Katikkiro yaggaddewo ttabamiruka w’Abakyaala ba Buganda amaze olunaku lulamba ng’ayinda mu Lubiri e Mengo.
Akinogaanyizza nti abakyala ssinga bakwatibwaako mu nkulaakulana yamaka basobola okusitula ebyenfuna.
Awabudde abaami okubaako emisiri gy’emmwanyi gyabawa abakyala bekulaakulanye n’okusitula amaka.
Katikkiro mungeri yeemu alabudde abakyala ku byekwaaso ebiyitiridde ku mirimu, okweetega Abasajja nga tebaagala kukola, kyagambye nti kibalemesezza okukola Obulungi emirimu gyabwe.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagguddewo Ttabamiruka ono naalaga obwennyamivu olw’engeri abakyala gyebakoseddwamu Ebyobulamu ebitali birungi, ebyenjigiriza eby’omunguuba n’Obwaavu obuyitiridde, era naabasaba babeere bayiiya.
Nnaabagereka mungeri yeemu asabye abantu ba Buganda ne Uganda okwettanira Ekisakaate kya Nnaabagereka ekibaawo buli mwaka, nategeeza nti kino kiyambye nnyo mu kuzza ensa mu baana ba Buganda ne Uganda abalenzi n’Abawala.
Agambye nti walina okuteekebwawo enkola ey’omuggundu ey’okuteekateeka abaana abalenzi, okuzimba eggwanga ery’enkya era eriggumidde mu by’amaka, n’ebyenfuna.
Minister w’Abakyala ne Bulungibwansi Owek Mariam Mayanja Nkalubo, yebazizza abakyaala olwokunyweeza obumu n’Okuwaanyisiganya nga ebirowoozo, ekibafudde abenjawulo.
Minister Omubeezi owa tekinologiya mu government ya wakati Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo,asabye abakyala okwettanira tekinologiya ,kyokka naabasaba okumukozesa n’obwegendereza.
Omukungu mu URA Hafswa Nabacwa bwabadde abangula abakyaala ku bikwaatagana n’Omusolo, asabye abatandikawo emirimu egyenjawulo okuvoberera emitendera gyonna, kyokka n’alabula abagaana okuwa Omusolo nti bali ku buzibu.
Abakyala bayigiriziddwa ku miramwa egy’enjawulo, omuli ebyenfuna, eby’amaka,eby’obulamu n’okwekulaakulanya.
Basanyusiddwa omuyimbi Stabua Nattoolo, era bangi balabiddwako nga banyeenya ku galiba enjole.
Bisakiddwa: Kato Denis