Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kikakasizza baddifiri bannansi ba Cameroon nti be bagenda okulamula omupiira wakati wa Uganda ne Ethiopia mu mpaka za Women’s Africa Cup of Nations qualifiers.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku Friday nga 21 February,2025 mu kisaawe e Nakivubo kusaawa 10 ez’olweggulo.
Marie Josephine yagenda okubeera mu kisaawe wakati, abawuubi be kitambala ye Victorine Bahane owa Cameroon ne Barbara Kozerembi owa Central African Republic.
Uganda bwemala okuzannya ne Ethiopia enkya, ttiimu zino zijja kuddingana nga 26 february, mu Addis Ababa.
Ttiimu ya Uganda ey’omupiira gw’abakazi eya Crested Cranes, erwana okukiika mu mpaka za Women’s Africa Cup of Nations omulundi ogw’okusatu, nga yasooka mu 2000 ne 2022.
Uganda mu mpaka za 2022 teyasomoka mutendera gwa bibinja.
Omutendesi wa Crested Cranes Sheryl Ulanda Botes, yayita ttiimu yabazannyi 39 okwetegekera Ethiopia.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe