Buddu etandise na maanyi mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza 2025, ekubye Gomba 1 :0.
Omupiira ogubaddeko n’obugombe gunyumidde abalabi mukisaawe kya Kitovu Sports Arena mu kibuga Masaka.

Goolo ewadde Buddu obuwanguzi eteebeddwa Chripus Sseruwugge.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza nnyo omutindo ogweyongera buli lukya mu mpaka z’amasaza naasaba bonna abavunaanyizibwa okugukuuma n’okuweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Minister wa bavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga yabazizza abantu bonna abakwatirako Obwakabaka mu mpaka zamasaza.

Mu ngeri yeemu Owek Sserwanga akunze abawagizi okweyiwa mu bisaawe okuwagira ttiimu zabwe zonna 18.
Ali balunywa owa Airtel Uganda abamu kubavujirizi b’empaka z’omupiira gwamasaza, yeyamye nti bakwongera okukwasizaako Obwakabaka okusitula ebitone ebirala.
Kulwa radio ya Kabaka CBS abavujiridde Empaka z’amasaza okuva lwezaddamu mu 2004 , Omuk. Michael Kawooya Mwebe akunze abavubuka mu Buganda okuwagira empaka zebyemizannyo zonna ezitegekebwa mu Obwakabaka.

Ssentebe w’olukiiko lw’empaka z’amasaza Sulaiman Ssejjengo ategezeezza nti empaka zongedde okusitula ebitone, okuwa abantu emirimu n’ensimbi, bwatyo asabye abawagizi okukuuma empisa.

Omupiira guno gwetabidwako omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, ba minister b’Obwakabaka , abaami b’amasaza , banabyabufuzi nabakulembeze kumitendera egyanjawulo
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius