Omulabirizi we Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, asabye abakkiriza bonna okwongera okusabira obwakabaka ne Uuganda yonna, mu kiseera kino nga Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awezezza emyaka 67.
Asabye Katonda okwongera okumutebusa emitego gyonna n’okumuwa obulamu obulungi.
Mu ngeri yeemu Omulabirizi Luwalira era ategezezza nti obulabirizi bwakukunganira e Namugongo nga 24 omwezi guno mu kusaba okwenjawulo, okuwanjagira Omutonzi eggwanga lyonna lisobole okuyita mu muyaga gw’ebikolobero ebirisaanikidde.
Asabidde eggwanga okuvvuunuka ebikolwa by’obutemu naddala obwebijambiya, n’okulwanagana okusitudde enkundi mu bendobendo lye Karamoja, okutulugunya abasibe nabantu baabulijjo nebirala ebizeemu okweyoleka mu ggwanga.
Bino bibadde mu bubakabwe bwaweerezza eggwanga,mu kwetegekera okujaguza paasika.
Omulabirizi Luwalira agambye nti ebikolwa bino bisaanidde okulwanyisibwa ennyo, saako ebizibu ebirala okuli enkayana ku ttaka,okwewanika kw’ebbeeyi y’ebintu, emisolo, olutalo lwe Russia ne Ukraine, n’olutalo lw’e Congo oluviiriddeko abaayo okuddukira e Uganda.
Omulabirizi ayogedde nekukizibu ky’omuliro ogukwata amasomero, obutale n’ebitundu ebirala, ssonga nabamu abakwatibwa mu bumenyi bwamateeka ate basigala bayinayina, ekireesewo ebiwundu bingi eri abantu baabulijjo.
Bishop Luwalira era mwenyamivu nti ensangi zino obubbi bwebintu kwa kyere nnyo, ssonga nebikolwa ebyobutemu bikolebwa mu lujjudde awatali kutya kwonna.
Agambye nti waliwo essuubi nti ng’abakkiriza balindirira amazuukira ga yesu,abantu abenyigira mu bikolwa ebyo bakwekuba mu kifuba benenye, era bazuukire wamu n’omwana wa Katonda.