Omwogezi wa ministry y’ensonga zoomunda mu ggwanga Simon Peter Mundeyi agambye nti abakomezeddwawo mulimu abaali abasomesa, abamu baaliko abakozi ba government n’abalala.
Kigambibwa nti abantu bano baalimbibwalimbibwa Simon Peter Opolot eyali omukozi wa government ez’ebitundu mu Soroti, nga kati y’akulira ekkanisa ya Christ’s Disciple’s Church nayo esangibwa mu district ye Soroti, eyabategeeza nti enkomerero y’ensi yali esembedde.
Yabagamba nti wabula waaliwo essuubi ly’abantu abamu okuwona enkomerero, singa basiiba enjala okumala ennaku 40 nga tebalina kyebalidde.
Oluvannyuma lw’ekisiibo, yabasuubiza nti Yesu Kristo yali wakukomawo ku nsi wabula nga teyali wakutuuka mu Uganda yali wakukoma Ethiopia.
Agambye nit bannauganda 80 abaali batuuka edda mu Ethiopia baakwatibwa nebakomezebwawo mu Uganda era baamaze dda okwanjulwa mu kifo ekikola ku nsonga z’abantu abafuluma n’okuyingira eggwanga mu district ye Moroto ekya Moroto Migration office nga bwebateekebwateekebwa okuzzibwayo mu b’enganda zabwe gyebaali baava.
Bannakenya abasoba mu 200 baafiira mu mbeera eno, abaali bagoberezi b’omusumba eyeyita Jesus of Bungoma nga kigambibwa nti omusumba wabwe yabalagira basiibe nga betegekera enkomerero eyali esembedde.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico