Olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya Nrm lwerwalagidde okulonda kuno kuddibweemu era luno lwaalagidde amyuuka ssentebbe wekibiina kino mu ggwanga Hajji Moses Kigongo okulangirira nokulondoola okulonda mu kitundu kye Nyabushozi.
Okulonda mu kibuga Arua kugenda kukolebwa mu cells 3 ezaalimu okusika omuguwa kweebyo ebyaasooka okulangirirwa ku kifo kyomubaka omukyala anaakwatira ekibiina kino bendera okukikirira ekibuga Arua Songa ekitundu kye Nyabushozi kigenda kuddamu okulonda kyonna anaakwatira ekibiina kino bendera ku kifo kyomubaka owa Nyabushozi.
Mu kitundu kye Nyabushozi embiranye eyamaanyi eri wakati wa Col Fred Mwesigye ne Wilson Kajwengye eyakawanya ebyaalangirirwa
Emanuel Dombo director webyamawulire ku kitebbe kyekibiina kino agambye nti abantu bonna abakwaatibwaako ensonga mu kibiina kino basindiikiddwa mu bitundu ebyo okukola ku nsonga zonna okuli naabo abanatunula mu okwemulugunya singa wabaawo abawaakanya ebinaava mu kamyuufu kano