Bannaabyamizannyo abekkiririzaamu nti bamanyi ebyemizannyo besowoddeyo okuvuganya mu kazannyo ka Bbingwa, mwebaddiramu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo.
Omuteesiteesi wa program Bbingwa James Ntambi agambye nti program zino zaakutandika nga 7 July, 2025 ku CBS Emmanduso ekiro okuva ku ssaawa nnya mu Program Akaati k’ebyemizannyo.
Ku nkomeroro y’enteekateeka eno Abawanguzi bakubuukawo n’ebirabo omuli, ekyapa ky’ettaka, ensimbi enkalu, Booda Booda ne School Fees.#