
Bannabyabufuzi abayaayaana okutwaala entebbe yobukulembeze bweggwanga lino tebaakaanyiza nakakiiko kebyokulonda, kubyokubekebejja ekirwadde kya covid19 nga tebana kugenda Kyambogo kwewandiisa eri akakiiko kebyokulonda
Akakiiko kebyokulonda olwaleero kasisinkanye bannabyabufuzi bonna,akakiiko kebaakakasiza emikono gyaabwe egibasemba okweesimbawo ku ntebbe yobukulembeze bweggwanga ,okubaako ensonga zebeegeyaamu nakakiiko kebyokulonda.
Mu nsisinkano eno etakkiriziddwaamu bannamawulire ettudde ku kitebe kyákakiiko ,kitegerekese nti akakiiko kebyokulonda kabadde kalagidde abantu bonna abaagala okweesimbawo naabo abantu abagenda okubasemba basooke bakeberebwe ekirwadde kya covid19, bannabyabufuzi kyebawakanyizza nti kyandibaamu omupango gwókubalemesa.
Omukulembeze wekibiina kya Alliance for National Transformation Maj Gen Mugisha Muntu abuulidde bannamawulire oluvanyuma lwensisinkaano nti ministry yebyobulamu teyeesigika yajjulamu abebyobufuzi, eyinza okubaako beeremesa okugenda okwewandiisa
Lewis Rubongoya ssaabawandiisi wekibiina kya NATIONAL unity Platform agambye nti ekya ministry yebyobulamu okubakebera tebakaanya nakyo,nti wabuola baleke abantu bagende bekebeze mu laboratory ezakkirizibwa ministry yébyóbuoamu okukebera covid 19.
Justine Kasule Lumumba ssaabawandiisi wa Nrm agambye nti basabye akakiiko kebyokulonda kekaba kasasulira abantu bano ensimbi ezokubakebera kubanga akakiiko kano bakasasula ensimbi nnyingi millon 20 okweewandiisa
Mu kiseera kino ssentebe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi simon Byabakama Mugenyi atandise okwogerako eri abamawulire.
Sabiiti ejja ennaku zomwezi 2 ne 3 akakiiko kano kakusunsula abagala okwesimbawo kubwa president.