Omumyuka ow’okubiri Owa Katikiro era Omuwanika wa Buganda ow’ekitiibwa Rotarian Robert waggwa Nsibirwa agambye nti waliwo obwetavu amawanga ga Africa okukolaganira awamu mukutumbula eby’enfuna n’okutuusa obuwereza naddala obujjanjabi eri abantu abetaavu
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde mu lukungaana olw’omulundi ogw’o kutaano olwa Rotary ebendobendo 22 eritaba amawanga ga Africa, olugenderedwamu okukubaganya ebirowoozo n’okusalira wamu amagezi kungeri yokusitula embeera z’obulamu bwa bantu mu Africa.
Oweki Waggwa agamba nti singa abantu mu Africa bayambibwako naddala mukufuna emirimu Africa yakukulakulanya abantu baayo.
Agambye nti Rotary ekyalina okusoomozebwa okuva kubbula ly’e Nsimbi nebikozesebwa mukukwatizaaako abantu abakyaali mumbeera eteyagaza mu bitundu ebyenjawulo.
Olukungana luno lwetabidwaamu n’omumyuka w’okulembeeze wa weggwanga lya Zambia Mutaawe Nammango, bana Rotary nabalala.
Bikungaanyiziddwa: Ssebuliba Julius