Ssaabasajja Kabaka Sseggwanga Ronald Muwenda Mutebi II atuuse mu lubiri e Mengo ku ssaawa musanvu ez’emisana ku mikolo egy’okujaguza bwegiweze emyaka 30 beddu ng’atudde ku Nnamulondo yaba Jjajja be alamula Obuganda.
Omutanda awerekeddwako Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ne Nnabagereka Sylivia Nagginda.
Nnyininsi asiimye n’alamusa ku mujaguzo wakati mu mizira okuva eri abantu be.
Oluvannyuma asiimye n’alambula abantu be abetabye ku mikolo gino, ng’akongojjebwa bazzukulu ba Kayiira abeddira Embogo.
Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo babaddewo nebawonga Omutanda mu mikono gya Katonda.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere nga yakulembeddemu Okusabira Matumpaggwa Ccuucu yebazizza Omutonzi olwokukuuma Ssaabasajja nga mulamu, kyokka naalaga obutali bumativu ku mululu n’Obulyake obweyongera mu ggwanga, yadde nga buzze buvumirirwa entakera.
Empalabwa esiimye Abasenero be aba Sseruti okumuwa Empoomereze (omubisi) naanywako.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga aloopedde Ssaabasajja ebibala Obwakabaka byebukungudde mu myaka 30 nga ali ku Namulondo ,omuli Ebitongole ebisiga nsimbi ,BBS terefayina CBF fm ,amasomero, amalwaliro, amatendekero agaawaggulu n’Okuyigiriza abantu ba Kabaka okulima okuvaamu ensimbi ,ekikyuysizza ebyenfuna by’abantu.
Katikkiro agambye nti wakyaliwo esuubi nti ebitanagguka naddala enfuga eya Federo nabyo bijakugguka.
Akubirizza abantu b’omutanda okwewala okwekubagiza wabula bakole n’amaanyi okwekulaakulanya.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwaama Augustine Kizito Mutumba yebazizza abataka okukuuma ennono z’ebika n’Okubeera abagumu naddala mu kiseera Kawenkene Obote bweyataataganya Obwakabaka, kyokka nebisigala nga bigumu.
Omutaka Namwama asabye abantu ba Buganda abalina ebika okusigala nga banyweeredde ku nnono z’Ebika byabwe.
Omukolo guno makunale gwetabiddwako Abalangira, Abambejja, Banaalinnya, ba minister ba Ssabasajja ne ba minister mu gavumenti yawakati, abaami baamasaza, abamagbolola, ababaka ba palimenti ,bannaddiini n’ebikonge ebirala bingi.
Ba Katikkiro abaawummula okuli Mulwanyammuli Ssemwogerere, Dan Muliika ne J.B Walusimbi babaddewo.
Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala yetabye ku mukolo guno.
Abayimbi abenjawulo basanyusizza Omutanda .