Bya Ddungu Davis
Ministry y’eby’enjigiriza erangiridde nti enteekateeka empya eyatuumibwa Uganda National Institute for Teacher Education, (UNITE), ng’eno yegenda okusikira amatendekero gonna agasomesa abasomesa ba primary aga PTC ne NTC nti etandika mwaka guno.
Mu nteekateeka eno abasoma obusomesa bwa primary ne secondary bateekeddwa okufuluma nga bali ku ddaala lya degree.
Ministry y’eby’enjigiriza egamba nti eyagala kumalirawo ddala enkola y’okufulumya abasomesa nga tebalina degree, kyokka nti amatendekero ga Primary Teachers College, (PTC), agabaddewo tegalina busobozi kusomesa basomesa kufuluma nga balina degree.
Ettendekero lya Shimoni Core Primary Teachers College, lyerimu ku gagenda okukyusibwa okufuuka Uganda National Institute for Teacher Education (UNITE).
Mu nteekateeka eno empya, Shimoni Core PTC, yakutwalibwa e Nkokonjeru olwo awabadde Shimoni kifuuke ekitebe ekikulu ekiroondoola amatendekero gano ekya UNITE.
Waliwo amatendekero amalala 5 okuli Muni, Kaliro, Kabale, Mubende ne Unyama, agawedde okulambula, nga geegamu ku gagenda okuyingizibwa mu nteekateeka eno, okusomesa abasomesa ba primary ne secondary.
Tukitegeddeko nti akakiiko ka ‘task force’ mu ministry y’eby’enjigiriza akali mu nteekateeka eno, kaawaddeyo ebigenda okusomesebwa mu nkola eno eri National Council for Higher Education okubakkiriza okutandika okugateekesa mu nkola.
Rev. Fr. Adrian Katarikawe ayogerera olukiiko lwa Task force, agamba nti buli ekyetaagisa kyonna kiwedde nga kati balinze mwezi gwa July omwaka guno 2022 okusoma okusomesa abayizi mu nteekateeka eno kutandike.
Government ebadde n’amatendekero ga PTC 46, nga kisuubirwa nti amatendekero 23 ku gano, gakufuulibwa gaabyamikono munkola eya Technical Vocational Education and Training (TVET).
Agasigadde gakufuulibwa masomero ga secondary, amalala ga primary.
Dr. Denis Mugimba ayogerera ministry y’eby’enjigiriza, agamba nti okusalawo ku nsonga eno kwakukolebwa omwaka ogujja, nga bamaze okulaba amatendekero agassidswa mu nkola ya UNITE gyeganaaba gatambulamu.
Associate Prof Namubiru Proscovia, omu ku bakulembeddemu enteekateeka eno, agamba nti amatendekero ga PTC gabadde galina obunafu bungi mu kufulumya abasomesa abatuukana n’obukugu obwetaagisa, so ng’abasomesa bakola kyamaanyi mu kusitula omuyindo gw’ebisomesebwa n’ebyenjigiriza byonna okutwaliza awamu.
Ono era annyonyodde nti kigenda kuyambako okutereeza omutindo gw’abasomesa abakufulumizibwa, nga bagala n’omulimu gwabwe.
Government yawa nsalessale wa myaka 10 okuva mu 2018, okuba nti abasomesa bonna mu ggwanga abaagala okusigala mu buweereza, balina okubeera ku mutendera gwa degree.