Kenya natte ezeemu okuwera amata ag’obuwunga gonna agava mu mawanga amalala, ekyeraliikirizza bannauganda.
Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mata mu Kenya ki Kenya Dairy Board Margret Kibogy mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti mu kiseera kino Kenya erina amata g’obuwunga agamala, ate nga n’enkuba etonnya ekigenda okwongera amata agakamwa mu Kenya okuba amangi.
Ekitongole kino ki Kenya Dairy Board kitegeezezza nti kino kikoleddwa okutaasa amakolero ga Kenya agakola ku mata, obutakosebwa.
Ekitongole kino era kiyimiriza mbagirawo okuwa licence eri abasuubuzi b’amata agava mu mawanga amalala okuyingira akatale ka Kenya.
Uganda yeemu ku mawanga agasinga okutunda amata mu Kenya. Mu mwaka 2019 Uganda yatunda amata ga buwumbi bwa shs 514 bwe bukadde bwa ddoola za America 135.
Omumyuka wa ssentebbe wa NRM mu buvanjuba bwa Uganda Captain George Mike Mukula yoomu ku balaze obutali bumattivu ku kikolwa kya Kenya, agambye nti Kenya okuwera amata agava mu mawanga amalala, kindiviirako olutalo lw’obusuubuzi okubalukawo wakati wa Kenya ne Uganda nate.
Kenya mu mwaka 2021 kinnajjukirwa nti era yawera amata agava mu Uganda ekintu ekyanyiiza nnyo abakulu mu government ya Uganda, abamu batuuka n’okusaba government efuneyo ebyamaguzi ebiva e Kenya nayo ebiwere okuyingira mu Uganda
Mu mwaka 2021 gwegumu, Kenya yawera kasooli ava mu Uganda era yalumiriza nti yalimu ekirungo ky’obutwa obuva ku mpumbu, obuvaako ekirwadde kya kkookoolo#