Omukomonsi wa firimbi ku mutendera gw’ensi yonna munnauganda Ali Sabila Chelangat, mu butongole alangiridde nga bwanyuse omulimu guno mbagirawo.
Ali Sabila Chelangat okuwumula kwe kudiridde ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, okumusuula ku lukalala lwa baddifiri 24 abakakasidwa okufuna badge za FIFA ez’omwaka ogujja.
Ali Sabila Chelangat ne munne Mashood Ssali be baddifiri ab’amannya abatalabikidde ku lukalala luno.
Olukalala luno lwalabikiddeko ba ddifiri okuli Dick Okello, Joshua Duula, William Oloya, Lucky Razake Kasalirwe ne George Olemu.
Ali Sabila Chelangat alumirizza FUFA olw’obutali bwenkanya bweyayolesa mu kugaba kaadi za FIFA ez’omwaka ogujja 2025, ate ng’emitendera gyonna yagiyita bulungi.
Kati kino kitegeeza nti Ali Sabila Chelangat yasembyeyo kulamula mupiira Express mukwano gwabangi bweyabadde ekuba KCCA mu kisaawe e Lugogo goolo 1-0 nga 07 December,2024 mu Uganda Premier League.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe