Abakulembeze ba district ye Buvuma batubidde ne ambulance eyokumazzi eyeryato eryomulembe , olw’obutaba na nsbi ziriguluramy mafuta.
Eryato lino lyabaweebwa ministry y’ebyobulamu okutambuza abalwadde.
Government mu mwaka 2021/2022 yagula embulance 12, okugonzaamu mu by’obujanjabi n’okudduukirira bannansi ku bizinga abeetaaga obuyambi bw’obujanjabi.
Obuwumbi bwa shs 9 bwebwaasaanyizibwa okugula ambulance zino.
Ambulance zino zaasooka kubeera ku mwaalo gwe Entebbe ku kitebe Kya Police yookumazzi okumala ebbanga nga tezisindiikibwa ku bizinga , okutuusa ababaka ba parliament abakiikirira ebizinga lwebaawanvuya ku maloboozi ,ministry yebyobulamu n’ezisindika ku bizinga okukola emirimu.
Ssentebbe wa district ye Buvuma Adrian Wasswa Ddungu abuulidde akulira oludda oluvuganya government nti ambulance eno emaze ebbanga nga tekola,olwa district obutaweebwa mafuta okuva eri ministry y’ebyobulamu, so nga nabo omutemwa gw’ensimbi ezibaweebwa okukola emirimu gya district nazo ntono.
Mu ngeri yeemu Ssentebe Adrian Wasswa Ddungu era agambye nti district ye Buvuma eri bubi nnyo ne mu nsonga z’ebyenjigiriza, olw’omuwendo gw’abaana abatassomye yadde primary okubeera waggulu.
Agambye nti mu bizinga bingi ebiwerako ebitalina yadde primary school ,naagamba nti ebizinga 10 ebikola district eno tebirina yadde essomero lya secondary.
Bino byonna babibuulidde akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mpuuga Nsamba abadde alambula ebizinga by’e Buvuma, okumanya embeera y’obuweereza obwenjawulo obutuusibwa ku bantu mu bitundu ebyo.
Mpuuga alambuddeko ku St.Mary’s Katuba primary school erisangibwa mu Buvuma Town Council, gy’asanze abayizi nga batuula mu ttaka lyennyini, ebizimbe by’essomero bya kadongo era nga omukulu w’essomero eryo omu yekka yasasulwa government, abasomesa abasigadde beyiiya bweyiiya.
Mu nsisinkano eno Mpuuga tabadde nabigambo biwoomu eri RDC we Buvuma ne DPC we Buvuma nga nabo ensisinkano eno bagyetaabyeemu, olwekikolwa kyebaakola okukakana ku mubaka omukyala owa district ye Buvuma Susan Mugabi Nakaziba nebamutulugunya gyebuvuddeko.#