Ng’amasomero agamu gatandise olwa leero olusoma lwa term eyokubiri, mu district ye Butambala, Gomba,Ssembabule ne Bukomansimbi abazadde beraliikirivu olw’emmotoka ennyingi eziyita mu bitundu ebyo abaana babwe zebabadde tebamanyidde nti ziyinza okubatomera.
Okusoomoozebwa okulala kuli ku bagoba b’ebidduka abavuga endiima ate nga nabo tebamanyidde kkubo eryo.
Abazadde abamu bagamba nti bagenda kulindako okuzzaayo abaana babwe ku masomero naddala abali mu bibiina ebya wansi, okutuusa ng’emmotoka zikendedde.
Embeera eno evudde ku mugga Katonga ogwabooga negubbomola oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, ekyaviirako emmotoka zonna ezaali ziruyitako okudda ku luguudo oluyita e Mpigi- Kanoni-Maddu- Ssembabule- Bukomansimbi – Masaka.
Embeera eno egenda mu wiiki bbiri era nga weyagwiraawo abayizi baali bali mu luwummula.
Abakulembeze wamu n’abatuuze mu bitundu ebyo bagamba nti abaana tebananyidde mbeera yabidduka bingi, kigenda kubakaluubiruza okusala oluguudo okutuuka ku masomero.
Okusinziira ku RDC w’e Butambala Lubwama Sulaiman Bukya baatudde mu lukiiko lw’ebyokwerinda nebasalawo okutegeeza ab’ekitongole kyeby’enguudo mu ggwanga kiyambeko waakiri kiteeke obugulumu mu bifo ebirimu amasomero, ate n’okwongera ku bungi bw’abasirikale bokunguudo okulambika abayizi ku byentambula.
Wabula era asabye n’abazadde okufaayo okuwerekera ku baana babwe babase amakubo, ekintu ekiyinza okukaluubiriza abazadde kubanga amasomero gali wala nnyo, okuwerekera abaana ku makya n’okubanona akawungeezi.
Ekitongole kya UNRA ekikola ku byenguudo kyasuubiza nti omulimu gw’okuzaawo olutindo lw’omugga Katonga guyinza okumalirizibwa mu wiiki 3, wabula kati gwakatambulako nnaku bunaku.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick