Abawuliriza ba CBS abeegattira mu kibiina kya CBS Fans Club basiimye Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okussaawo Laadiyo CBS, ebasobozesezza okuyiga ebintu ebitali bimu ebibatuusizza mu kwesiima.
Okusiima kuno bakukoledde mu kibuga Fortpotal bwe babadde bakomekkereza okulambula okubaddemu eby’okusomesebwa ebintu ebyenjawulo, kwe bamazeeko ennaku 3 mu bugwanjuba bwa Uganda.
Abawuliriza baavudde mu matabi ag’enjawulo babanguddwa ku bikwata ku butonde bw’ensi, eby’obukulembeze, okunyweza emirandira gya SACCO y’abawuliriza wamu n’okubaako bye bayiga ku buwangwa bw’abantu baayo.
Bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku SACCO yaabwe beeyamye okugiwagira awatali kwesaasira kubanga egenda kubayamba okubakulaakulanya.
Abawuliriza bano baasomedde mu Kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park ne ku Bethel Hotel.
Bagamba nti beeyongedde okutegeera obukulu bw’okukuuma obutonde bw’ensi kuba baalabye ku miziro gyabwe mu Kkuumiro ly’ebisolo wamu n’ebika by’omuddo n’emiti ebitali bimu.
Baasomeseddwa obukulu bw’eby’obulambuzi eri bannauganda nga kino kyesigamiziddwa ku nsimbi eziva mu bulambuzi ne zigasa eggwanga.
Baalambudde ennyanja Katwe awava omunnyo wamu n’omugagga Nyamwamba ogwakosa ennyo abantu baayo.
Ebyo bye biyinja Nyamwamba byakuluggusa okuva ku lusozi Rwenzori.
Bwe batuuse ku lusozi Rwenzori baaniriziddwa Kibalama Bulasiyo Brian Kibuule avunanyizibwa ku kifo kino, asoomozezza bannauganda okugenda okulambula ebifo ebyaffe wano mu Uganda okusinga okubirekera abazungu.
Akwanaganya abawuliriza ba CBS Godfrey Male Busuulwa agambye nti olugendo luno lukomekkerezeddwa bulungi, era nga nekyalutegesezza nti kivuddeyo bulungi .#