Emirimu gyongedde okusanyalala okumala ekiseera ku mwalo gwe Obongi mu district ye Moyo , abavubi 3 ababadde bali ku muyiggo gw’omuserikale wa police Justin Rubangakene eyafiiridde mu mazzi, omuyaga bwegubakubye nabo nebagwamu.
Abasatu bano abatannamanyika mannya, eryato mwebabadde batambulira omuyaga gulikubye neribabbika mu mazzi.
Akolanga omwogezi wa police mu district ye Moyo Dragudu Ignustius agambye nti abasatu bano bataasiddwa nebaddusibwa mu ddwaliro lya Obongi Health Centre IV okufuna obujjanjabi, nga bali mu mbeera mbi.
Omulambo gw’Omuserikale Justin Rubangakene ateeberezebwa okuba nti yakubiddwa masasi guzuuliddwa, era gugenda kutwalibwa mu ddwaliro lya Obongi Health centre IV gwekebejjebwe.
Kigambibwa nti Omuserikale ono amazzi yagaguddemu ku ssaawa bbiri ez’ekiro kya Saturday, era kigambibwa yasinzittuse okuva ku kidyeeri ekyabadde kiyimiridde ku mwalo ogwo, so nga waliwo nebigambivwa nti yesudde yekka mu mazzi, mu ngeri y’okweggya mu bulamu bw’ensi
Azabo Tobius omuserikale gweyabadde akuuma naye ekidyeeri kino yakwatiddwa okuyambako police mu kunoonyereza.
Bisakiddwa: Kato Denis