Abantu mukaaga bagambibwa okuba nga bafiiridde mu mazzi g’ennyanja Nalubaale,babadde bava ku mwalo e Kiyindi nga bagenda Buvuma.
Babadde batambulira ku kinaala ekibadde kitwala ebikozesebwa okuzimba amazzi amayonjo mu ggombolola ye Bweema.
Abateeberezebwa okufiira ku kinaala kino kuliko ategerekeseeko limu lya Kanankole era ye nnyini kinaala kino, Geoffrey,Deo n’abalala abatanategerekeko wadde ebibabakwato.
Kwabadde n’abasumba babiri abagambibwa nti babadde bagenda ku kizinga kye Namatale.
Kigambibwa nti ekinaala kino baakirinnye kawungeezi kajjo ku Sunday,nebabalinda ekiro kyonna nga tebatuuka, so nga olugendo lwonna okuva e Kiyindi okutuuka e Buvuma gyebabadde bagenda lwa ssaawa emu.
Bwebukedde leero nebatandika okubanonyaako nga bwebakuba essimu ku myalo egyenjawulo,nga balowooza nti bandiba nga baabuze,olunaku lwonna lutuuse kuziba nga tebalabikako.
Abatuuze Cbs beyogedde okuli Kamya Peter Kansala we Bweema akiika ku district e Buvuma,Kiggundu Amina Ow’eddembe n’abalala batutegezezza nti ekinaala kino kyabadde kitisse cement,amayinja n’emitayimbwa.
Bateebereza nti bwekyatuuse mu kagolomolo akalimu amazzi omuyita emmeeri okumpi n’akazinga ke Mpuuga ,omuyaga wegwabakudde nebabbira n’ebintu.
Ssentebe w’egombolola ye Bweema era yakulira eby’okwerinda byayo agambye nti bakwataganye ne police y’okumazzi okwongera okubanonyako.