Abantu 5 bafiiridde mu kabenje akaguddewo mu kiro kya Wednesday, nga 05 March,2025 e Kagoma ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo road sso nga 21 bebabuseewo n’ebisago.
Akabenje kano kazingiddemu emmotoka 10 okubadde mmotoka namba UBQ 745N kika kya Noah, UAY 704B Hiece,UAT 652k Hiece ,UBK 769A kika kya Fuso, UBD 829G Hiece,UBL 333C Corolla, UAV 026F Hiece,UBQ 062B seinta ,Taxi No. UBD 483N Hiace ne boda boda namba UES 773k kika kya Yamaha.
Police egamba nti okunonyereza kweyakakoka kulaze nti omugoba wa Fuso UBK 769A abadde ava e Kampala ng’agenda e Bombo mmotoka emulemeredde kwekuyingirira motoka zino nazitomera.
Omwogezi wa police y’ebidduka Micheal Kananura agambye nti abantu 5 baafiiriddewo ate 21 baatwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo ng’embeera mbi.#