Ministry y’eby’obulamu ekakasizza nti waliwo abantu abalala 2 abazuliddwamu ekirwadde kya Ebola mu Kampala.
Abazuulidwa beebamu ku bantu abaalina akakwate ku mugenzi omujjanjabi eyasooka okuzuulibwamu ekirwadde kino wiiki ewedde.
Abantu bano 2 beebamu kwabo abasoba mu 200 abaakaawulibwa mu balala nga bano baalinako akakwate n’omugenzi.
Omulwadde eyasooka okufa yalina akawuka aka Ebola Sudan Strain, yali musawo ku daala lyobwa Nurse era yafa nga 29 January,2025.
Ainebyona Emmanuel, ayogerera ministry y’ebyobulamu agamba nti abazuuliddwa n’obulwadde bateekeddwa mu malwaliro ga government gyebajanjabirwa n’okulondoolwa.
Mu ngeri yeemu, omumyuka w’akulira ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu Dr. Mike Ryan asisinkanye abakulu mu ministry y’eby’obulamu mu Uganda okwekenneenya engeri gy’ekuttemu ekirwadde kya Ebola, kireme kusaasaana.
Bisakiddwa: Ddungu Davis