Abantu 5 ababadde batambulira ku pikipiki emu ekika Kya Boxer UFM 237K bafiiriddewo mbulaga, oluvanyuma lw’abadde ajivuga okwagala okuyisa emmotoka ekika kya fuso, náyambalagana ne bus ekika kya link UBF 953 W n’ebasaanyaawo bonna.
Akabenje kano kagudde mu Ggombolola ye Kyegumbya mu District ye Kiboga, era emirambo gyonna
5 gitwaluddwa mu Ddwaliro ekkulu e kiboga.
Okusinziira ku mwogezi wa Police mu bendobeendo lya Wamala Region ASP Reachel Kawala agambye nti okunoonyereza kwebaakafunawo kulaga nti okuvugisa ekimama kwómuvuzi wa Bodabooda yandiba nga ye kanaluzaala.
Bisakiddwa: Membe John