Police ekutte abantu 4 ku bigambibwa nti balina akakwatte ku kutemulwa kwa Munamateeka Mukisa Ronnie eyakubwa amasasi mu makaage
Gyebuvuddeko abatuuze be Mutungo Ndejje mu Makindye Sabagabo mu district ye Wakiso bagwamu entiisa, mutuuze munabwe eyali Munamateeka Mukisa Ronnie bweyakubwa amasasi nga yakayingira mu kikomera mweyali asula.
Kigambibwa nti eyakuba Mukisa Ronnie amasasi yamugera yakayingira ekikomera, wabula aba yakava mu mmotoka okugenda okuggalawo oluggi lwa gate kwekumusindirira amasasi.
Mukisa Ronnie yali akola ne Kampuni ya IBC advocates esangibwa ku Namanda plaza mu Kampala.
Okusinzira kunonyereza okwakakolwawo ba mbega ba, baliko abantu 4 abagombeddwamu obwala ku bigambibwa nti baliiko kyebamanyi kukuttibwa kwa Mukisa.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti okunonyereza kukyagenda maaso ,era abakwatte bakutwalibwa mu mbuga z’amateeka babeeko byebanyonyola.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru