Embeera yakiyongobero mu kibuga Mukono mu kitundu ekimanyiddwa nga e Wantoni, oluvannyuma lw’emmotoka okulemerera omugoba waayo nesaabala abantu, 3 bafiiriddewo ate 9 basigadde n’ebisago eby’amaanyi.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu Kampala n’emirirano, akabenje Kano kaabaddewo ssaawa nga ssatu ekiro ekikeesezza leero nga 21 May,2025, nga Mmotoka eyavuddeko abantu okufiirwa obulamu eri number UBB 422U ekika kya Fuso.
Ebadde etisse ebintu ebyenjawulo ng’eva Kampala edda ku lwe Jinja.
Kigambibwa nti Mmotoka eno yabadde edduka nnyo ekyagiviiriddeko okulemerera omugoba waayo neyingirira taxi eyabadde etikka abasaabaze, saako ababadde abatunda ebyokulya mu katale ka Ttonninyiramukange, omuli emmere, obuugi, chips, saako ababadde bazze okulya ekyeggulo nebalinnya.
Bisakiddwa: Nalugo Prossy