Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kironze bannauganda 3 ku buvunaanyizibwa obwenjawulo mu mpaka za CAF Champions League ne CAF Confederations Cup.
Dickson Okello alondeddwa okukulira eby’okwerinda ku mupiira ogw’okuddiηηana wakati wa club ya Pyramids eya Misiri ng’ettunka ne Mamerodi Sundowns eya South Africa mu final y’empaka za CAF Champions League.
Omupiira guno gwakuzanyibwa nga 01 omwezi ogwomukaaga mu kibuga Cairo ekya Misiri, wabula nga oluzannya olusooka lugenda kuberewo nga 24 omwezi guno e South Africa.
Leilah Nankya alondeddwa okukwasaganya abagenyi ku mupiira club ya Simba eya Tanzania bwenaaba ettunka ne RS Berkane eya Morocco mu mupiira ogw’okuddiηηana ku final y’empaka za CAF Confederations Cup nga 25 May,2025 e Zanzibar.
Mu ngeri yeemu omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, alondeddwa akulira amawulire ku mupiira gwe gumu ogwa Simba ng’ettunka ne RS Berkane, ng’oluzannya olwasoose e Morocco RS Berkane yakubye Simba goolo 2-0.
Ku final zombiriri Uganda erinako abazannyi, nga mu CAF Champions League erinamu Dennis Masinde Onyango azannyira mu Mamerodi Sundowns, ne mu Simba eri mu CAF Confederations Cup erinamu Steven Mukwala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe