Abamu ku bakozi ba radio CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo okumwagaliza olunaku lw’amazaalibwa ge olulungi.
Bakulembeddwamu akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS FM Hajji Abby Mukiibi, omumyuka we atwala 89.2 Martin Oscar Kintu ne munnamateeka Namale Vivian.