Police ng’eyambibwako eggye lya UPDF eggalidde abajaasi ba UPDF 5 lwakukola ffujjo nebasuula emisanvu gy’amaggwa mu luguudo, ekitaataaganyizza entambula y’ebidduka.
Bino bibadde ku kyalo Kakoola mu district ye Wakiso.
Abataano bano kuliko kopolo Kasaija Niclous,Private Oleti Isaac, kopolo Leti Jacob ne private Kazibwe Javira effujjo baalikoze akawungeezi k’eggulo, kyokka nebalemesebwa baserikale banaabwe abaabalabye nga bakola ebitaliimunsa, n’ekigendererwa ekyokugya ensimbi ku bantu.
Amyuka omwogezi w’eggye lya UPDF Col Deo Akiiki, agambye nti abakwate bano bakutwalibwa mu kooti ewozesa bannamagye bawerennembe.
Bisakiddwa: Kato Denis