Obwakabaka busaasidde captain Francis Babu olwókufiirwa omutabani Cedrick Babu Ndilima.
Cedric Babu yafiira Nairobi mu Kenya gyayaddusibwa okuva e Rwanda ng’embeera y’obulamubwe etabuse.
Obubaka obusaasira Katikkiro wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga, abuttise Minister w’amawulire , Okukunga era Omwogezi w’obwakabaka Owekitiibwa Isreal Kazibwe Kitooke.
Katikkiro agambye nti Cedric Babu abadde omuzannyi za Tennis, atadde ettofaali ddene ku ggwanga lye, ng’ayita mu by’emizannyo.
Ku lwa government eya wakati, Amyuka Sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa Bangirana ategezezeezza nti goverment mu kiseera kino ettadde essira ku kuzimba amalwaliro agali ku mutendera gwensi yonna okuwa baanayuganda obujjanjabi obusaanidde.
Missa ekulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere nasaba abantu abasoomozebwa obutaterebuka okuva ku Katonda.
Captain Francis Babu yebazizza Omukama olw’ekirabo kya Cedric Babu gwayogeddeko nti abadde mwana mukozi era Omuwulirize.
Missa eno yetabidwaako Nabagereka Silivia Nagginda, abakungu okuva mu bwakabaka ne government nabantu abalala bangi.
Bisakiddwa:Ssebuliba Julius