Kyadaaki akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga katongozza ekibiina ky’ebyobufuzi ki Peoples’ Front For Freedom (PFF) ekibadde kiteembetwa abaali ba Memba ba FDC nebakyabulira.
Bakwasiddwa Satifikeeti ebakkiriza okwenyigira n’okwetaaya mu by’obufuzi bwa Uganda.
Akabonero ka PFF ka Ssimu.
Ekibiina kino ekya PFF kijidde mu kiseera ng’akakiiko ke byokulonda era kakatongoza ekibiina ki Democratic Front, mu bbanga eritanaweza na mwezi mulamba.
Harold Kaija akolanga Ssaabawandiisi wa PFF abasangiddwa ku wofiisi wabwe ku Katonga Road mu kibuga Kampala agambye nti batandiikiddewo okweteekerateekera akalulu ka 2026, bagenda kutandikira kukuwandiisa abavubuka besimbeewo ku bifo ebyenjawulo
Kinajukirwa nti bano okutandikawo PFF kyava ku butakanya obwabalukawo mu kibiina kya FDC, nga ba memba abamu balumiririza abakulira FDC okutikiza n’ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM, ku bigambibwa nti kyekyavujjirira neyali yesimbyewo ku kaadi yabwe ku bwa president bwa Uganda Eng.Patrick Amuriat, mu kalulu ka 2021.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif