Bannakibiina kya Democratic party abatakaanyizza nebyavudde mu kulonda okwabadde mu kibuga kye Mbarara nga bakulembeddwamu eyabadde yesimbyewo kubwa president bwa Democratic party era omubaka wa Bukoto central Eng Richard Ssebamala, batandise ekisiinde kyebatuumye DP Great Again nti basobole okweddiza obuyiinza bw’ekibiina kyabwe.
balangiridde nti bagenda kutandika okutalaaga ebitundu by’eggwanga okunoonya bannakibiina kya Dp bonna bwebalina endowooza yokuzza obuggya DP.
Basinzidde mu lukuηaana lwa bannammawulire e Ssenge mu Wakiso nabategeeza nga bwebamaze okutwala okwemulugunya kWabwe mu kkooti okwanika ebyabadde mu Ttabamiruka eyatudde e Mbarara, gyebasuubira nti kkooti yakusatulula obukulembeze obwalondeddwa nga bukulemberwa Norbert Mao
Eng Ssebamala mungeri yemu asekeredde ababadde balowooza nti bagenda kuva mukibiina kya Dp nti bbo kati bamaliridde okuzuukusa ekibiina basobole okukwata enkasi y’eggwanga .
Lukumbuka Robert Brians nga ye mwogezi w’ekisinda ekya Dp Great Again agamba nti mu bwangu ddala bagenda kuteekawo office webagenda okutambuliriza emirimu.
Okulonda DP okwayindira mu kibuga Mbarara okuva nga 31 May, okutuuka nga 02 June,2025 kwamaamirwa obutabanguko n’obuvuyo bw’eby’okulonda, ng’abamu bagaba nti kaalimu okubbira akalulu akaawangulwa Nobert Mao, era nga ye minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi mu government eyawakati ekulemberwa ekibiina ki NRM.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny