Ku kasozi Kampala mukadde okutuula ekitebe ky’Obuyisiraamu ki Uganda Muslim supreme Council, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje alabudde ku bulyake bwagambye nti bubuutikidde abamu ku bavunaanyizibwa ku kutwala abantu e Makka okukola Hijja, ekifiirizza abantu ensimbi n’ebiseera.
Sheikh Mubajje abadde akulembeddemu okusaala Eid Adhuha eya 2025 ku muzikiti El Qaddafi ku Old Kampala, naasaba wabeewo okunoonyereza ku bantu ne kampuni ezitwaala Abaddu ba Allanh e Makka nga babasaba ensimbi entono ddala kyokka nebatabatwaala.
Sheikh Mubajje alabudde ku mbeera y’Ebyobufuzi atendiseewo mu ggwanga, nabasaba okubeera abakkakamu.
Omumyuka asooka owa Ssaabawandiisi wa Uganda supreme council Sheikh Muhammad Ali Alma, asabye abayisiraamu okwewandiisa okufuna Endagamuntu, baleme kulabwa ng’abatawagira nteekateeka za government.
Bisakiddwa : Kato Denis