Akabenje kagudde mu town council eye Mpigi mu ssaza Mawokota, omuvubuka abadde yaakagula mmotoka emulemeredde netomera omwana owemyezi 10 neemutta.
Omuvubuka Lawrence Tumazirwe myaka 32, yatomedde omwana n’amutta kigambibwa nti emmotoka kika kya Toyota Mark X UBA 942 A abadde yakagigula.
Aberabiddeko bagamba nti abadde adduka endiima ku kaserengeto mu bitundu bye Kyasaanku, bw’atuuse ku luguudo olunene olwa kkolaasi aluyiseemu buyisi n’ayingirira ennyumba ebadde ebusukka kkubo, nayo eguddeko ekitundu.
Mu nnyumba eno mubaddemu maama n’abaana be 2, wabula omuto ow’emyezi 10 tasimattuse.
Abatuuze balumiriza Tumazirwe okuba nti abadde yakayiga okuvuga emmotoka wiiki 3 eziyise, kyokka oluguze emmotoka n’atandikirawo okugivuga endiima.
Ayogerera police mu bitundu bye Mpigi Lydia Katushabe agambye nti Lawrence Tumazirwe akwatiddwa, akuumibwa mu kaduukulu ka police e Mpigi.
Lawrence musuubuzi w’ebintu bya plastic ebikadde byagula nabitunda ku makolero agabisaanuusa negakolamu ebintu ebirala.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick