Bya Ddungu Davis
Abadde sipiika wa parliament ya Uganda Jacob L’okori Oulanyah aziikiddwa ku kyalo Ajuri mu gombolola ye Lalogi mu district ye Omoro.
Oulanyah aziikiddwa oluvannyuma lw’ennaku 20 okuva lweyafiira mu kibuga Seattle ekya United States of America gyeyali atwaliddwa okujanjabibwa.
Aziikiddwa mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu,wakati mu mizira,amazina g’obuwangwa n’ebiwoobe.
President Museveni yasalawo okusiima Jacob Oulanyah ng’aziikibwa mu bitiibwa by’abazira b’eggwanga,olw’obuweereza bwe obubadde obwenjawulo eri eggwanga.
Bamukubidde emizinga 17 wadde tabadde era tawerezangako mu maggye oba mu bitongole by’okwerinda.
Ssanduuko omubadde omubiri gwa Jacob Oulanyah ebadde ezingiddwamu bendera y’eggwanga, wabula bwebadde essibwa mu ntaana, bendera negibwako.
Wabaddewo abazinyi ababadde bazina amazina ag’obuwangwa agayitibwa Bwola dance, okujaguza obulamu bwa Jacob Oulanyah, era bagazinye ku mikolo gyonna okuva lweyakomezebwawo.
Abazinyi babadde bakutte amafumu, engabo, n’amaliba g’ensolo zomunsiko, nga kitegerekese nti kino kigendereddemu okulaga nti Jacob Oulanyah abadde muzira.
Bannakibiina ky’abavuzi ba pikipiki ennene aba Bikers’ association omugenzi mweyali memba bamusiimye mu ngeri eyenjawulo nga bamutaddeko ekikofiira kyebambala ku mutwe okwerinda akabenje.
Mu ngeri yeemu ab’olugamda lw’omugenzi Jacob Oulanyah, bategezezza nti bakukola emikolo egyennono gyonna,okusiibula obulungi mutabani wabwe mu kitiibwa olwebyo byakoze mu kitundu kya Acholi n’obukiika kkono bw’eggwanga ebijjuvu.

Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, mu bubaka bwatisse omumyukawe Maj Rtd. Jessica Alupo, ku mikolo gyokusiibula Oulanyah, yeyamye okwongera okukwasizaako famire y’omungenzi naddala abaana.

President Museveni akubagizza taata wa Jacob Oulanyah, n’obukadde bwa shilling 50 okweralibirira naabenganda, ate abaana b’omugenzi bawereddwa amabugo gabukadde 20 era bonna ssente zibakwasiddwa Rtd. Maj. Jessica Alupo.
Emikolo egyokusabira n’okusiibula Jacob Lokori Oulanyah, jisanyaladdemu okumala akabanga,kibuyaga bwatikuddewo weema,omubadde muteereddwa ssanduuko.
Muzeeyi Nathan Lokori ategezezza abakungubazi,nti mutabani we Jacob Oulanyah yamubuulirako nti yali yawebwa obutwa nti era bagenda okumutwala ebweru w’eggwanga ng’aweddeyo era kyali kizibu okuwona.
Mzee Nathan Lokori mungeri yeemu asabye ssabalamuzi wa Uganda His Lordship Owiny Dollo, okumukwasizaako okutaasa emmaali ya mutabaniwe , abatamanya ngamba abeesomye okujitwala.
Obubaka bwa Muzeeyi Nathan Lokori bubadde buvvuunulwa president wa DP Nobert Mao.
Ku lulwe, Nobert Mao, agambye nti kano keekadde ensi okumanya amazima nokwogera amazima, mu kifo kyokuziyira mu kimugunyu.
Ssaabalamuzi wa Uganda Owinyi Dollo, agambye nti omugenzi okufakwe yakumanya omwezi mulamba emabega n’akimanya nti yali asemberedde okufa kwe, kyokka nti abadde musajja muvumu era omulwanyi ku nsonga eno.
Sipiika wa parliament omuggya Anita Annet Among, agambye nti wakwetikka obuvunanyizibwa obumu mu busobozibwe, okuyambako okutuukiriza ebimu ku bintu Jacob Oulanyah byabadde akwatibwako.

Mu kusooka wabaddewo okusaba okwokusiima emirimu gy’omugenzi nebyo byakoledde ebendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda.

Okusaba kukulembeddwamu ekkanisa ya Uganda, ng’eyaliko ssaabalabirizi wekkanisa ya Uganda eyawummula, Emeritus Luke Orombi, ne ssabalabirizi wa Uganda the most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu bebakulembeddemu okusinza n’okubuulira.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ne minister w’abavubuka nebyemizannyo Owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu bebatutte obubaka obw’okusaasira.
Abantu abenjawulo n’ebitongole bawaddeyo obubaka obusaasira.