Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asoomozezza abazadde okufaayo ku baana babwe nga bakyali mu bibiina bya wansi, nti kubanga omutendera ogwa Primary gwegubawa omusingi gwekyo kyebaliba munsi nga bakuze.
Katikkiro agambye nti omwana asomedde mu masomero amayabayaba aga primary, asaanga okusoomozebwa mu masomero aga waggulu.
Abadde ku ssomero lya Makindye Junior Academy Nursery, Day and Boarding School e Salaama bwebabadde bajaguza emyaka 20 bukyanga litandikibwawo nga liwa abayizi ebyenjigiriza eby’omutindo.
Essomero lino lyatandikibwawo Christopher Kiwanuka Makumbi.
Katikkiro alambuziddwa ebintu ebyenjawulo ebikolebwa abayizi, neyebaza bannyini ssomero okusaayo ebyenjigiriza ebiri ku musingi ogw’okubangula omuyizi ajjudde mu byomutwe n’emikono.
Minister owebyenjigiriza mu bwakabaka bwa Buganda Owek.Cotilda Nakate yebazizza abatandisi b’amasomero agobwannanyini olwokwewaayo nebateeka ettofaali kukuzimba omwana we ggwanga.
Omulabirizi we Mukono omuwumuze Paul Luzinda, akubirizza abaddukanya amassomero okutendekera eggwanga abantu abesimbu ate abatalina mululu, ntikubanga omulugube gw’ebintu ensangi zino gususse.
Omubaka wa parliament owa Makindye West Allan Ssewanyana yebazizza mukuumadamula olwobutasirisa Ddoboozi mu kaseera bweyali mu kkomera ne mubaka munne Muhammad Sseggirinya owa Kawempe North.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred