Ab’ekibiina kya Kampala Hash Harriers abaddusi b’embiro empanvu mu nkola ey’okwewummuzaamu bajaguzza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda age 68 mu ngeri eyenjawulo.
Bakulembeddwamu Omulangira Daudi Kintu Wasajja.
Omukolo guno gubadde mu bimuli bya Bulange e Mengo, era basaze ne ceeki y’amazaalibwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukiza abetabye ku mukolo guno okuba obulindaala ku kirwadde kya siriimu, n’abategeeza nti kakyejiriisa mu bantu ab’ebiti byonna.#