Abavunaanibwa kuliko Omwogezi wa Parliament era akulira eby’amawulire Chris Obore, Adilo Daniel abadde akulira abakozi, Okema Leonard abadde Secretary mu office ya Sipiika, Rajab Kaaya Ssemalulu munoonyereza mu Parliament , Okwi Emmanuel Emuron Principal Protocol Officer ku Parliament, Itute Stella Muyambi ku mirimu gya Parliament era ono talabiseeko mu kooti saako Otebata Vincent Capacity Development Officer ku Parliament ne Murebe Methods ssenkulu wa Sacco ya Parliament.
Oludda oluwaabi lubalumiriza nti wakati w’omwaka 2023 ne May,2026 nga beyambisa wofiisi zaabwe baabulankanya obuwumbi bwa shs 27, ezaali zirina okukozesebwa okutumbula ekifaananyi kya Parliament mu bantu, wabula nebazitwala butereevu ku account zabwe ez’obuntu.
Omwogezi wa wofiisi ya Kaliisoliiso wa government Ali Munira ategezezza CBS nti waliwo abakozi abalala ku Parliament abanoonyerezebwako, era essaawa yonna bakuyitibwa eri Kaliisoliiso wa government okubaako byebanyonyola.
Ekikwekweto ku kunoonyereza ku bulyake n’obukenuzi ku Parliament ya Uganda kyatandikira ku eyali Sipiika Annet Anita Among, abakuuma ddembe bwebazinga amaka ge agawerako era ne batwala neezimu ku mmotokaze saako ebintu ebirala.#