Ttiimu y’essaza Gomba ewangudde omupiira gwayo ogusooka mu mpaka z’Amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2026, ekubye Ssese goolo 2-1 mu kisaawe e Kabulasoke.
Mu mupiira guno ogubaddeko n’obugombe, goolo eziwadde Gomba obuwanguzi zitebeddwa Alfred Ssebunya ne Robert Ssewanyana, ate eya Ssese eteebeddwa Reagan Musiitwa.
Gomba ewezezza obubonero 4 okuva mu mipiira 2, nga ogwasooka yagwa maliri ne Busiro 0-0 e Nabbingo.
Ssese erina akabonero kamu okuva mu mipiira 2.
Aba ssese nga bakulembedwamu omyuka wa Kkweeba Owek. Suzan Namubiru, agumizza aba Ssese nti bagenda kukola buli ekisoboka okukomyawo omutindo gwa ttiimu yabwe.
Emipiira emirala, Kyadondo egudde maliri ne Buddu goolo 1-1 e Wampeewo.
Busujju erumbye Buluuli omwayo mu kisaawe e Kakooge n’egikubirayo goolo 2-1.
Kyaggwe ekubye Busiro goolo 1-0 e Mukono.
Mawokota nayo erumbye Bulemeezi omwayo mu kisaawe kya Kasana Luweero n’egikubirayo goolo 1-0.
Mawogola egudde maliri ne Bugerere goolo 1-1 e Ssembabule.
Kabula egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Bakijjulula Lyantonde.
Kkooki nayo egudde maliri ne Ssingo goolo 1-1 e Kyotera.
Buvuma yakubye Buweekula goolo 1-1 e Magyo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












