Club y’omupiira eya Uganda Revenue Authority egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, erangiridde Jimmy Kintu Mwera ng’omutendesi omuggya owa club eno mu kwetegekera season ejja eya 2026/27.
Jimmy Kintu Mwera azze mu bigere bya Hussein Mbalangu, ayagobeddwa ku mulimu guno amangu ddala nga season ewedde yakakomekerezebwa.
Season ewedde URA yamalidde mu kifo kya 11 mu Uganda Premier League, nga gwe mulundi gwe kyasinze okukola obubi mu byafaayo bya liigi eno.
Jimmy Kintu Mweru atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 ng’atendeka URA, era ku mulimu guno agenda kumyukibwa Godfrey Magoba.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













