Essiga eddamuzi litongozza enteekateeka ey’okugonjoola emisango gy’ettaka mu kkooti enkulu mu Kampala okuyita mu nkola ey’okuteesaganya, nekigendererwa eky’okukendeeza ku bungi bw’emisango egiri mu kooti.
Bw’abadde atongoza enkola eno etuumiddwa Mediation Fortnight, akulira abalamuzi mu kooti enkulu Jane Frances Abodo agambye nti enteekateeka eno yakumala wiiki bbiri ng’etandise 29 June,2026.
Asabye abantu abalina emisango mu kkooti y’ebyettaka mu Kampala okujjettanira
Omulamuzi Abodo annyonyodde nti mu kiseera kino kkooti enkulu evunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, erina emisango egisoba mu 7,000 egitanawulirwa kyokka nga balina abalamuzi mwenda bokka n’abawandiisi basatu.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu ey’ebyettaka mu Kampala, Josephine Kabasinguzi Kayondo, annyonyodde nti enkola eno ey’ekitaawuluzi yakusobozesa abaneneηηana n’emisango gy’ettaka okuteeseganya nga bayambibwako kooti.
Annyonyodde nti enkola eno nnungi nyo kubanga tetwala budde bungi, era ng’eyamba n’okukendeeza ku ssente ezisasanyizibwa mu kuwoza emisango mu kkooti.
Asabye banna Uganda bonna abalina emisango mu kkooti okugyettanira kubanga buli lunaku emisango gyeyongera ate nga abalamuzi batono ddala.
Essiga eddamuzi ligambye nti balina enteekateeka okugaziya enkola eno mu kkooti zonna okusobola okuyamba abantu abagenda mu kkooti okufuna obwenkanya mu bwangu era obw’emirembe.
Bisakiddwa: Betty Zziwa













