Omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Musevenni aliko abakungu mu ministry y’ebyetambula n’enguUdo baalagidde bagende mu luwummula olukake, ku bigambibwa nti bebamu kubabadde bateeka emivuyo mu nteekateeka z’okukola enguudo.
President Museveni abakulu baayimirizza kigambibwa nti bali 4 okuli naabadde omuteesiteesi omukulu owa ministry eno Waiswa Bageya.
Kigambibwa nti bano ebibafuumuzza mubaddemu ebikwata ku nkozesa embi eya ssente (accountability), embeera y’e ngudo embi mu bitundu by’e] ggwanga ebyenjawulo, sso nga ezimu kigambibwa nti ensimbi ezaalina okuziddaabiriza zaafulumizibwa naye nezitakola byezaalina kukola.
Kigambibwa nti oluguudo olukolebwa olwa mwasanyala olwa Busega -Mpigi lwelumu ku biviiriddeko abakulu bano okuyimirizibwa ku mirimu, olw’emivuyo egyetobeka mu kusasula abantu abali ewagenda okuyita oluguudo.
Oluguddo luno luwererako ddala kirometers 23.7 nga government ya Uganda yeruvugirira saako banka y’ebyobubusubuzi eya African Development Banka, era omwaka 2025 banka enno yafulumya obuwumbi 909 okulaba nga omulimu gumalirirzibwa kyoka n’okutuuka kati gwayimirira.
Abakulu bagenze okuyimirizibwa nga President kyajje akyuse abadde minister mu ministry eno Gen Edward Katumba Wamala namusikiza Fred Byamukama abadde omubeezi we.
Cbs bwetukiridde abadde omuteesiteesi omukulu mu ministry eno Waiswa Bageya akakasiza nti ekiwandiiko ekimusiindika mu luwummula yakifunye dda, era asibamu bibye agende.











