• Latest
  • Trending
  • All
Bannamawulire 635 bebatulugunyiziddwa mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise – HRNJ report

Bannamawulire 635 bebatulugunyiziddwa mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise – HRNJ report

May 2, 2025
Ssaabasajja Kabaka ayagalizza abaddu ba Allah Eid El fitr eya 2026 – asabye akulembeze abaalondeddwa okutuukiriza ebisuubizo

Ssaabasajja Kabaka ayagalizza abaddu ba Allah Eid El fitr eya 2026 – asabye akulembeze abaalondeddwa okutuukiriza ebisuubizo

March 20, 2026
Cbs ekwagaliza Eid ennungi – Eid Mubarak

Cbs ekwagaliza Eid ennungi – Eid Mubarak

March 20, 2026
Abaana abasoba mu bitundu 40% mu Uganda tebalabangako ku bazadde babwe

Abaana abasoba mu bitundu 40% mu Uganda tebalabangako ku bazadde babwe

March 19, 2026

Bannauganda abaagenda okukola Umurah bakonkomalidde e Jeedah mu Saudi Arabia

March 19, 2026
Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

March 18, 2026
Senegal egyiddwako obuwanguzi bw’ekikopo kya AFCON 2025 – kiweereddwa Morocco ne ggoolo 3

Senegal egyiddwako obuwanguzi bw’ekikopo kya AFCON 2025 – kiweereddwa Morocco ne ggoolo 3

March 18, 2026
Parliament eyisizza etteeka ku biyiiye – abanaalimenya bakusibwa emyaka 10 oba okusasula obukadde bwa shs 40

Parliament eyisizza etteeka ku biyiiye – abanaalimenya bakusibwa emyaka 10 oba okusasula obukadde bwa shs 40

March 17, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye naalambulako ku basuubuzi b’akatale ke Katwe akaayidde omuliro emmaali nesaanawo – bagambye bafunye essuubi eriddamu okukola n’amaanyi

Ssaabasajja Kabaka asiimye naalambulako ku basuubuzi b’akatale ke Katwe akaayidde omuliro emmaali nesaanawo – bagambye bafunye essuubi eriddamu okukola n’amaanyi

March 17, 2026
Police ekutte abakozi 7 aba Court Yard hotel bagiyambeko mu kunoonyereza ku batemu b’emmundu abaalumba omubaka Enos Asiimwe Kanywamacunda

Police ekutte abakozi 7 aba Court Yard hotel bagiyambeko mu kunoonyereza ku batemu b’emmundu abaalumba omubaka Enos Asiimwe Kanywamacunda

March 17, 2026
Parliament eyagala eddwaliro ly’e Kiruddu libeere lyabwereere awatali kusasulayo sente neemu – aba ‘Private’ baggyibwewo abagala bagende mu g’obwannanyini

Parliament eyagala eddwaliro ly’e Kiruddu libeere lyabwereere awatali kusasulayo sente neemu – aba ‘Private’ baggyibwewo abagala bagende mu g’obwannanyini

March 17, 2026
Canon Fred Kazibwe abadde akulira King’s College Budo awaddeyo wofiisi eri Godfrey Kasamba headmaster omujja

Canon Fred Kazibwe abadde akulira King’s College Budo awaddeyo wofiisi eri Godfrey Kasamba headmaster omujja

March 16, 2026

Kaliisoliiso wa government awadde nsalesale eri abakozi ba government 202 – baliwe ensimbi eziri mu buwumbi bwa shs 2.3 ezigambibwa okuba nti baazibulankanya

March 16, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Bannamawulire 635 bebatulugunyiziddwa mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise – HRNJ report

by Namubiru Juliet
May 2, 2025
in Amawulire
0 0
0
Bannamawulire 635 bebatulugunyiziddwa mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise – HRNJ report
0
SHARES
105
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Alipoota ekwata ku kutyoboolebwa k’Eddembe lya Bannamawulire mu Uganda mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise,  eraze nti Bannamawulire 635 bebatuusiddwaako obulabe n’Okutyoboolebwako eddembe lyaabwe nga bakola emirimu gyabwe.

Alipoota y’Omwaka 2024 efulumiziddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya Bannamawulire ki Human Rights network for Journalists Uganda, eraze nti Bannamawulire 110 bebatyoboolebwa eddembe mu mwaka 2024, wadde Omuwendo gwakendedde okuva ku bannamawulire 122 abatyoboolebwa mu mwaka 2023.

Alipoota eraze nti Bannamawulire 52 bebagaanibwa okukola emirimu gyaabwe, 8 ebyuuma byaabwe byayonoonebwa, 3 batisibwatiisibwa okuttibwa, 5 batwaalibwa mu kkooti ,2 ebyuma byabwe byabbibwa.

Alipoota eno eraze nti ekitongole kya Police kyekikyanywedde akendo mu kutulugunya bannamawulire n’emisango 38, UPDF neddako. ate JAT nedda mu kyokusatu, nga erina Emisingo 13, military police Emisingo 2, ate abantu ba buligyo 28 bebaatuusa obulabe ku bannamawulire.

Obulumbaganyi bwa bitundu 50% bwakolebwa ku bannamawulire abakolera ku TV, ebitundu 27% ku bannamawulire aba Radio, ebitundu 9% ba Mpapula z’Amawulire ,ate 6.3% bebagasakira ku mitimbagano.

Bannamawulire 15 nga bakyaala bebatuusibwako obulabe ku Mirimu gy’Okugasaka, okuva ku bannamawulire abakyaala 14 abaakosebwa mu mwaka 2023.

Ekitundu kya Kampala kyaafuna emisango gya bannamawulire 70 omwaaka 2024, Wakiso emisango 12, Gulu ne Lwengo 5, Mpigi 4,Arua ne Kyenjojo 3, ate Mubende ne Oyam omusango 1 Ssonga ebitundu ebirala temwali kutulugunya bannamawulire.

Bannamawulire mu Buganda bafunye emisango 96, Obukiiko ddyo bwa Uganda emisango 6, bukiika kkono (Western) emisango 5, ate West Nile emisango 3 gyokka.

Bwabadde atongoza alipoota eno mu Kampala, akulira ekitongole ekirwanirira bannamawulire ki Human rights Network for Journalists Uganda Robert Ssempala, asabye wassibwewo akakiiko akalondoola eddembe lya Bannamawulire bafune Obwenkanya.

Ssempala ayogedde ku mbeera y’Omusaala Omutono bannamawulire gwebafuna, naasaba abaddukanya emikutu obutafuiriza baweereza.

Margret Ssekajja nga memba ku kitongole ki Human Rights Network for Journalists Uganda, agambye nti okutulugunyizibwa kwa bannamawulire Abakyaala ssinga kuneeyongera, bannamawulire Abakyaala boolekedde okusuulawo emirimu bakole ebirala.

Bannamawulire nga bakulembeddwamu Ivan Kimuli Kigozi, bennyamivu olwengeri ebitongole ebimenyeddwa mu kutyoboola eddembe gyebiremedde ku neeyisa enkyaamu, naasaba ababikulira okubaako kyebakola.

Bisakiddwa: Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka ayagalizza abaddu ba Allah Eid El fitr eya 2026 – asabye akulembeze abaalondeddwa okutuukiriza ebisuubizo
  • Cbs ekwagaliza Eid ennungi – Eid Mubarak
  • Abaana abasoba mu bitundu 40% mu Uganda tebalabangako ku bazadde babwe
  • Bannauganda abaagenda okukola Umurah bakonkomalidde e Jeedah mu Saudi Arabia
  • Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist