Munnauganda oomuddusi w’emisinde ku mutendera gw’ensi yonna Jacob Kiplimo ayongedde okukola ebyafaayo, bweyeddiza omudaali gw’ensi yonna ogwa zaabu mu mpaka za World Cross Country Championships.
Emisinde gino gibadde mu kibuga Belgrade ekya Serbi.
Jacob Kiplimo okutuuka ku buwanguzi emisinde gino egya kilo mita 10 egiddukidde edakiika 28:09.
Munnansi wa Ethiopia Berihu Aregawi akutte ekifo kyakubiri n’edakiika 28:12 n’awangula feeza ate munna Kenya Benson Kiplangat ekutte kyakusatu n’edakiika 28:14 n’awangula omudaali ogw’ekikomo.
Jacob Kiplimo omudaali ogwa zaabu aguwangudde omulundi ogw’okubiri ogw’omudringanwa, nga yeyawangula n’emisinde egy’omwaka oguwedde 2023 egyaali mu Bathurst mu Australia.
Bannayuganda abalala abetabye mu misinde gino kubaddeko Josgua Chepetegei akutte ekifo kya 6, Dan Chebet ekifo kya 11, Hosea Kiplangat ekifo kya 13 ne Martin Magengo Kiprotich ekutte ekifo kya 14.
Uganda mu mpaka zino yakikiriddwa abaddusi 27 okubadde abasajja n,abakazi, okubadde n’abavuganyizza mu misinde egy’abaddusi abatasukka myaka 20.
Uganda eyongedde okuwangula emidaali gya zaabu egy’omuddiringanwa mu misinde gino,okuva mu 2019 Joshua Chepetegei lwe yawangula, olwo Jacob Kiplimo naye n’awangula emirundi 2 egiddiringana.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe