President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ayogeddeko eri eggwanga n’okuggulawo omwaka gwa parliament eye 11 ogusembayo.
Emikolo giyindidde ku kisaawe ky’amefuga e Kololo.
President Museveni agambye nti buli munnauganda alina okufuba okubaako kyeyekolera ekivaamu ensimbi, nti kubanga enkulaakulana Uganda gyetunuulidde tesaanye kuleka muntu mabega, n’alabula nti anaasigalira ajjakwenenya yekka.
Annonyodde nti okulambula kwabaddeko okwetoloola eggwanga alabye abantu abakyusizza obulamu nga bayita ku ntegeka za government omuli Emyooga, Parish Development Model n’emirala
Agambye nti omwaka 2030 wegunaatuukira Uganda ejjakuba yeyongedde okukulaakulana n’okuvuganya ku katale k’ensi yonna ng’ejjakuba esobola okutunda eby’amaguzi ebiyingiza ensimbi eziwera obuwumbibwa Dollah ya America $158 billion.
President Museveni akikaatirizza nti kati essira liteekeddwa kukuzimba amakolero n’enguudo okutondawo emirimu, okuziimba amalwaliro egajjanjaba kookolo n’emitima mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, wabula n’akubiriza abantu okubeera abasawo b’obulamu bwabwe abasooka, nga bakola dduyiro, balya emmere ya bulijjo erimu ebiriisa, okukuuma obuyonjo n’ebirala.
President Museveni aweze eby’obugagga by’omuttaka byonna ebitwalibwa ebweru w’eggwanga nga tebisoose kusunsulwa oba okugattibwako omutindo.
Agambye nti ba musigansimbi basobola okweyambisa obungi bw’amasannyalaze agali mu Uganda, okukola emirimu obulungi, naawa eky’okulabirako nti mu 1986 Uganda yalina ebbibiro lya’amasannyalaze limu nga lyali lifulumya amasannyalaze agaweza megawatts 150,, kati mu 2025 gaawera 4, nga gonna bw’ogagatta gasobola okufulumya amasannyalaze agaweza megawatts 1,163.

President Museveni mu ngeri yeemu ateenderezza bannascience ba Uganda abeyongedde okulaga obukugu n’okutumbula ebintu mu ggwanga, omuli okugatta emmotoka ez’amasannyalaze, eby’amasannyalaze, eddagala erigema n’eriwonya endwadde n’ebirala.
President Museveni yebazizza Parliament olw’omulimu amakula gwebaakola, ogw’okuyisa ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erifuga eggye ly’eggwanga erya UPDF, era etteeka eryo lyayamba okuwa obuyinza kooti z’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo abakwatibwa n’ebintu ebyefaanaanyiriza eby’amagye.
Wabula agugumbudde ababaka ab’oludda oluvuganya government, bagambye nti bamala gawakanya buli nteekateeka ereetebwa government ye nga tebasoose kwefumiitiriza.
Sipiika wa Parliament Anita Annet Among bw’abadde aggulawo n’okukubiriza parliament eno, ayanjudde amannya g’ababaka ba parliament 8 abasaze eddiiro nebegatta ku bibiina ebirala.