Akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC kalangiridde entekateeka ey’okugyayo empapula eri abegwanyiza ebifo ebyenjawulo nga betegekera akalulu ka 2026
Ku mulundi guno akakiiko ke byokulonda katadewo enkola eyenjawulo okusobozesa abanntu okufuna empapula zino okwewala okukwatirira ku kitebe ky’ekibiina.
Okugyayo empapula z’ababaka ba palamenti ne ba meeya kwakubaawo nga 16 ne 17 June, ate nga abegwanyiza ebifo byabakansala bakuggyayo empapula nga 12 ne 13 June.
Ayagala okuvuganya ku bubaka bwa parliament wakusasula emitwalo 100,000/=,sentebe wa district Mitwalo 50,000,municipali bakusasula emitwalo 20,000/= ate ba kansala babwereere.
Ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu FDC Bonefance Toterebuka Bamwenda agambye nti okusala ensimbi za begwanyiza ebifo bakikoze obutasibira bantu bweru olw’obutaba na nsimbi.
Bamwenda agambye nti Eng. Patrick Amuriat Oboi ne Nathan Nandala Mafabi bbo batandiise okutalaaga eggwanga nga banoonya akalulu akaanaakwatira FDC Bendera ku bwa President mu 2026 era nti era kakuyege wabwe atambula bulungi.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif