• Latest
  • Trending
  • All
Abaduumizi ba UPDF 2 bagobeddwa mu magye lwa  butiitiizi – bannabwe abasoba 50 baattibwa abatujju ba Alshabab e Somalia

Abaduumizi ba UPDF 2 bagobeddwa mu magye lwa butiitiizi – bannabwe abasoba 50 baattibwa abatujju ba Alshabab e Somalia

November 13, 2023
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Abaduumizi ba UPDF 2 bagobeddwa mu magye lwa butiitiizi – bannabwe abasoba 50 baattibwa abatujju ba Alshabab e Somalia

by Namubiru Juliet
November 13, 2023
in Amawulire
0 0
0
Abaduumizi ba UPDF 2 bagobeddwa mu magye lwa  butiitiizi – bannabwe abasoba 50 baattibwa abatujju ba Alshabab e Somalia
0
SHARES
1.3k
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Kooti y’eggye lya Uganda erya UPDF etudde mu kibuga Mogadishu ekya  Somalia esingisizza bannamagye 2 okuli Maj John Steven Oluka 58  ne Maj Zadock Abor 49,omusango ogw’obutitiizi  n’okulemererwa okukuuma bannabwe,  ekyaviirako abatujju ba Alshabab okubakolako obulumbaganyi omwafiira abajaasi abasoba mu 50 mu mwezi gwa May 2023.

Okusinziira ku bujulizi obuleetedwa, ababiri bano  nga 25th May 2023 baafuna okutemezebwako okuva mu Kitongole ekikessi olw’obulumbaganyi obwali busuubirwa era nga bwali buteekebwateekebwa abayeekera ba Alshabab ku nkambi ya UPDF eya Bulomera Forward Operating gyebaali baduumira mu kiseera ekyo.

Wabula abaduumizi bano nti beesuulirayo gwa Naggamba era enkeera nga 26 May abatujju ba Alshabab baakola obulumbaganyi ku nkambi eyo nebatirimbula abajaasi ba Uganda abasoba mu 50.

Ensala ya kooti  etegezezza nti bano oluvanyuma lw’okuwulira nga emmundu etandise okuseka mu nkambi yabwe baalemererwa okukozesa obuyinza bwabwe okukumaakuma bannabwe basobole okulwanyisa abalabe, wabula basalawo okuddukira mu nkambi endala eya Golweny Forward Operating Base mu ngeri ey’okwetegula ekibabu ekyaviirako bannabwe bangi okuttibwa.

Ssentebe wa kooti y’amagye Brig. Gen. Freeman Mugabe oluvannyuma lw’okuwulira obujulizi obuleetedwa, wasinzidde ababiri bano n’abasalira ogw’okugobwa mu magye olwe kikolwa kyebaakola ekitaakoma kukuswaza eggye, wabula n’okuttisa bannabwe.

Brig Gen Mugambe abalagidde okujulira obutasukka nnaku 14 mu kooti yemu singa baba tebamatidde na nsala ye.

Abalala abasingisidwa emisango kuliko Cpl Okot Alex Anyatta akaligiddwa mu nkomyo yebakeyo emyaka 16, Cpl Twinemanzi Hagai emyaka 22, Sgt Obeyo Ronald emyaka 17 ate Sgt Kakooza William emyezi 10 ne nnaku 18.

Omwogezi w’amagye ga UPDF agali ku mulimu ogw’okukuuma emirembe mu ssomalia Maj Peter Mugisa ategezezza nti kooti etudde mu Somalia nefuna ekifaananyi ekituufu ku byaliwo, nga babyesigamya ku bujulizi obuleeteddwa nga bubaluma, nebasingisibwa emisango.

Bisakiddwa: Ssebuliba William

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026
  • Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde
  • Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga
  • Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya
  • Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -