Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board (UNEB) kifulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 ebyatuulwa omwaka oguyise 2024, nga gwemulundi ogusookedde ddala abayizi okukola ebigezo ebyesigamiziddwa ku nsomesa empya ( new curriculum), ebadde yakamala emyaka 4 ng’esiddwa mu nkola.
Ssentebe wa UNEB Dan Odongo, agambye nti okutwaliza awamu ebibuuzo ebisookedde ddala bitambudde bulungi, ng’abayizi ebitundu 98% bayise okugenda ku mutendera oguddako ogwa S.5 n’ematandekero g’ebyemikono.
Abaana ab’okuweebwa satifikeeti baweereddwa obubonero okuva ku A,B,C,D, era nga bano buli omu alina obukugu n’obusobozi bw’afunye okubaako byakola nga yesigama ku bimusomeseddwa mu masomo ag’enjawulo.
Abalala abafunye E bakyetaaga okusomesebwa omwaka guno 2025 baddemu okukola ebibuuzo.
Abayizi bagezeseddwa entegeera y’obwongo bwabwe, entaputa y’ebibasomesebwa, obukugu, obukodyo n’obuyiiya bwebakozesa okuddamu ebibuuzo, n’ebirala, era nga buli omu alina amaanyi ge wegakoma.

Odongo agambye nti abaana emyaka gyebamala ku buli mutendera gwebasoma babeerako byebayiga, nga n’olwekyo embuuza y’ebibuuzo empya, egendrera okumanya buli mwana engeri gy’ategeeramu ebintu, okubissa mu nkola, n’obuyiiya bwebakozesa okukola ebintu ebyenjawulo.
Abafunye E bebayizi ababeera balemereddwa okufuna obubonero obw’essalira mu masomo gonna ne project work. Bano bateekeddwa mu ddaala ery’okubiri 2 (result 2) ery’abayizi abataaga okuddamu okusoma S.4 n’okuddamu okukola ebibuuzo okulaga nti balinawo wakiri byebaayiga.
Mu new Curriculum omuyizi alina okuba nga yakola waakiri empapula 8 ( nga nga bafunamu obubonero A,B,C,D), era satifikeeti zabwe zissibwako Result 1, ate abataaweza masomo (subjects) 8, nga tebaakola wadde project work, abo bassibwa mu mutendera ogwa Result 2.
Dan Odongo agambye nti abayizi abalina Empapula eziriko Result 2 ne 3, bbo ssibakukkirizibwa kufuna satifikeeti wadde okweyongerayo mu S.5, era baweebwa amagezi okuddamu ebibuuzo, babeereko eddaala lyebasengekebwako.

Abayizi abawala bakoze bulungi okusiinga abalenzi mu ssomo ly’oluzungu, okusiiga ebifaananyi,n’ebyafaayo n’eddiini, ate abalenzi nebasiinga mu masomo ga science gonna.

Wabula okutwalira awamu essomo lya biology, Chemistry, ne Physics tegakoleddwa bulungi, olw’abayizi okulemererwa okuddamu obulungi ebibuuzo, era nga ne mu kugolola ebibuuzo bino abasomesa bekalakaasa, nga bagamba nti ensimbi ez’okubigolola zaali zetaaga okusiinga kwezo ezaali zibaweebwa ku masomo amalala.