• Latest
  • Trending
  • All
Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

May 27, 2022

Abaana n’abakyala bebasinga okukaaba olw’obutondebwensi obutyoboolwa

November 30, 2023
Ba ssentebe b’ebyalo bambalidde KCCA – abakozi baayo basusse okutulugunya abantu

Ba ssentebe b’ebyalo bambalidde KCCA – abakozi baayo basusse okutulugunya abantu

November 30, 2023
FIFA eragidde El Merriekh esasule ebbanja lya Express FC – omuzannyi gwebaajiguza yegatta dda ku tiimu endala

FIFA eragidde El Merriekh esasule ebbanja lya Express FC – omuzannyi gwebaajiguza yegatta dda ku tiimu endala

November 30, 2023
Abavubuka mubazuukuse baddemu embavu ezikola – Equal Opportunities Commission

Abavubuka mubazuukuse baddemu embavu ezikola – Equal Opportunities Commission

November 30, 2023
Government ereese alipoota ku bantu abazze babuzibwawo – egamba nti abamu ba mpewo abalala bagala kufuna butuuze mu mawanga amalala

Government ereese alipoota ku bantu abazze babuzibwawo – egamba nti abamu ba mpewo abalala bagala kufuna butuuze mu mawanga amalala

November 29, 2023
Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

November 29, 2023
CECAFA U18 – Uganda ekubye Zanzibar

CECAFA U18 – Uganda ekubye Zanzibar

November 29, 2023
Ttabamiruka w’abalungamya b’emikolo 2023 – essira balitadde kukuwandiika ebyafaayo

Ttabamiruka w’abalungamya b’emikolo 2023 – essira balitadde kukuwandiika ebyafaayo

November 29, 2023
Fr.Lawrence Mudduse aziikiddwa mu Kiyinda – ayogeddwako ng’omuntu abadde amanyi okukwanaganya eddiini n’obuwangwa

Fr.Lawrence Mudduse aziikiddwa mu Kiyinda – ayogeddwako ng’omuntu abadde amanyi okukwanaganya eddiini n’obuwangwa

November 29, 2023
Ebyapa by’ettaka 26 okuli ebitebe bya Uganda mu Mawanga amalala tebimanyiddwako mayitire

Ebyapa by’ettaka 26 okuli ebitebe bya Uganda mu Mawanga amalala tebimanyiddwako mayitire

November 29, 2023
Eby’obugagga by’obusiraamu bikyali mu lusuubo – kooti ewadde ensala kukujulira kwa UMSC

Eby’obugagga by’obusiraamu bikyali mu lusuubo – kooti ewadde ensala kukujulira kwa UMSC

November 29, 2023

Mmotoka y’amatooke egaanye okusiba esaabadde mmotoka endala e Makindye

November 29, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Nature

Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo

by Namubiru Juliet
May 27, 2022
in Nature
0 0
0
Yiino e𝝶𝝶onge – ensajja tesuulirira baana baayo
0
SHARES
241
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bwetwogera ku nsolo kafulu mukuwuga , tolemwa kwogera  ku 𝝶𝝶onge mu lungereza gyebayita Otter .

E𝝶𝝶onge ebeera mu mazzi.

Wano mu Buganda e 𝝶𝝶onge muziro, akabbiro kayitibwa Kaneene bwombi busolo busangibwa mu nnyanja.

Omutaka owákasolya kékika kye 𝝶𝝶onge ye Kisolo e Bweza Busujju era yewali obutaka.

Abé𝝶𝝶onge balina emibala ebiri; – Ddala ddala bweza Lutaaya bweza, Ssenkungu bweza Kitumba bweza- byaddalu byaddalu bi Nakiwala byaddalu.

Omubala omulala guvuga nti: Ddala ddala bweza, Lutaaya bweza, Ssenkungu bweza, Kitumba bweza- Lwajjali lwajjali, mwegali mwegali, abakyanjankete, be ppo ddogo, bwegaliba amafumu tuligendana-bi Nakiwala byaddulu.

Ba Nalutaaya, Lutaaya, Najjemba, Nakiganda , Muganga, Namuganga, Gwokyalya, Ssenkungu,Ssembatya, Nambatya, Nakiwala beddira 𝝶𝝶onge.

Omulimu gwabe 𝝶𝝶onge omukulu mu Lubiri, kukomaga nókulabirira Kabaka mu byókunywa, era kyekibogeza nti mwegali mwegali (mu ndeku), babeera bogera ku mazzi.

Buli mwaka mu kisaawe ky’obutonde bw’ensi, olunaku lw’E 𝝶𝝶onge lukuzibwa, lutuuka  buli lw’akusatu olusembayo mu mwezi ogwa May buli mwaka.

Ekigendererwa kyókukuza olunaku luno kwekwefumiitiriza ku bulamu bwé 𝝶𝝶onge bwezibeeramu, okuli amazzi gémigga nénnyanja, nga singa gakalira e 𝝶𝝶onge nazo zibeera mu matigga.

E𝝶𝝶onge erimu ebika 13 okwetoloola ensi yonna.

Wano ku lukalu lwa Africa kuliko ebika bina byokka, ate mu Uganda  mulimu ebika 3 okuli; “African Clawless Otter,  Congo Clawless Otter ne Spotted Necked Otter’’.

Ngógyeko e𝝶𝝶onge okumanyibwa okuba nóbukugu mu kuwuga, e 𝝶𝝶onge era y’ensolo esinga okuba n’obwoya ebungi ku mubiri gwayo,  naddala ekika ky’ e𝝶𝝶onge ekiwangalira mu gayanja aganene – Sea Otters.

Ebyoya bino tebiganya mazzi kutuuka ku lususu lwa 𝝶𝝶onge yadde ebeera nnyo mu mazzi.

E 𝝶𝝶onge kisolo ekinyumirwa obulamu obw’okubeera obw’omu, wabula mu biseera byókunoonya emmere byegatta mu bibinja ekibyanguyizaako okukwata ebyennyanja naddala ekiro.

Thembo Johnson Puruka omusomesa ku nsonga z’obutonde bw’ensi ku Uganda Wildlife Conservation Education Center – Entebbe zoo, agamba nti okwefaananyirizaako n’abantu kyebagamba nti okuwuga kubalumya enjala,né 𝝶𝝶onge nazo zirumwa nnyo enjala olwébiseera byazo ebisinga okubeera nga ziwuga.

E 𝝶𝝶onge erya byannyanja kwegattiriza,ebikere, ebiwuka ebibeera  mu mazzi  n’obusolo obutonotono saako ebinyonyi.

E 𝝶𝝶onge olwókuba zaagala okubeera obwomu,  ensajja  n’enkazi okubeerako awamu ebbanga eddene ekigendererwa kiba ky’akuzaala.

Ensajja olumala okuwakisa enkazi ngébulawo, okuddamu  okulabikako ng’omwana oba abaana baayo (tetera kusukka basatu) bawezezza emyezi 5.

Ekisinga okugikomyawo kw’ekuyambako mu kukuza abaana ng’ebayiggira n’okubawa emmere.

Abaana b’e 𝝶𝝶onge bazaalibwa tebalaba   bazibula luvanyuma, ate nebatandika okuwuga nga bawezezza wiiki 8.

Omuwendo omutuufu ogw’ e𝝶𝝶onge tegumayiddwa, wabula ekitongole ekirondoola omuwendo gw’ensolo munsi yonna  ki International Union of Conservation Nature, kiraga nti zongedde okukendeera mu bungi, naddala mu bitundu obutonde omuli ennyanja , emigga n’entobazi gyebyonooneddwa.

Bisakiddwa: Diana Kibuuka

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abaana n’abakyala bebasinga okukaaba olw’obutondebwensi obutyoboolwa
  • Ba ssentebe b’ebyalo bambalidde KCCA – abakozi baayo basusse okutulugunya abantu
  • FIFA eragidde El Merriekh esasule ebbanja lya Express FC – omuzannyi gwebaajiguza yegatta dda ku tiimu endala
  • Abavubuka mubazuukuse baddemu embavu ezikola – Equal Opportunities Commission
  • Government ereese alipoota ku bantu abazze babuzibwawo – egamba nti abamu ba mpewo abalala bagala kufuna butuuze mu mawanga amalala

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist