Obukadde bwa Uganda obukunukkiriza mu 200 bwebuleeteddwa abantu ba Ssemunywa okuva mu Masaza agenjawulo, okudduukirira entekateeka z’Obwakabaka ezenjawulo.
Obukadde 131 busondeddwa Banna Rotary club ya Kampala Ssese Island ne Watoto Church ,nga kuno Watoto ewaddeko Obukadde 53 n’ekitundu, ate Rotary club ya Kampala Ssese Island Obukadde 78 nÓmusobyo.
Ensimbi ezireeteddwa banna Rotary ne Watoto Church obukadde 131 nÓmusobyo zigenda kugattibwa kweezo ezetaagisa okumaliriza eddwaaliro eriseyeeya, erigenda okukozesebwa okutuusa obuweereza mu byobulamu eri abantu ba Kabaka ababeera mu Bizinga.
Bw’abadde akwasibwa ensimbi ezivudde mu Watoto Church ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza aba Watoto ne Rotary Kampala Sese Island olwÓkwagaliza Obwakabaka, nga batoola ku kyebalinawo.

Katikkiro mu ngeri yeemu atikkudde Oluwalo lwa Bukadde bwa Uganda 60 okuva mu masaza ga Beene agakiise embuga.
Katikkiro asinzidde mu Luwalo naalabula ku busambattuko obwabadde mu kulonda kwa ba ssentebe ba LC esooka, nga buno bwavudde mu kulwanira Buyinza okwa mancoolo.
Katikkiro agambye nti abakulembera obusambattuko mu kulonda kw’ebyalo bebalabe b’eggwanga abasookerwako, abagenderera okussaawo embiranye mu batuuze b’ebyalo.
Katikkiro ayozaayozezza bonna abawangudde akalulu k’Obwa Ssentebe wa LC esooka mu mazima, kyokka naabasaba okutuusa Obuweereza obusaanidde eri Abantu.
Minister wa gavumenti ezebitundu Owek Joseph Kawukii yebazizza abantu ba Kabaka abatadde amaanyi mu kutumbula ebyobulamu ,naddala nga bateeka ettoffaali ku ddwaaliro eriseyeeya.
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza nga yaabadde Omugabe, yebazizza abaami ba Ssaabasajja okukola buli kisoboka nebawagira Obwakabaka, nga bayita mu bantu ku byalo.
Akulira ekkanisa ya Watoto mu Uganda Musumba Julius Rwotlonyo yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwÓkuwa ekkanisa ya Watoto Omukisa okutegeka okusaba kw’okujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33.

Omutemwa gw’ensimbi oguleeteddwa buli ggombolola
Gombolola ya Ssaabaddu Kassanda ereese obukadde 12.
Mutuba II Kakiri eleese obukadde 11.
Mutuba III Namayumba obukadde 7.
Ssaabawaali Bukoto obukadde 4.
Mutuba ii Ssemuto obukadde 7.
Mutuba III Makindye obukadde 4 okuva mu masomero.
Ssaabaddu Ntenjeru obukadde 6.
Mutuba gumu Masuliita obukadde 8.
Abakyaala be Ssingo obukadde bwa shs 2.7
Bisakiddwa: Kato Denis









